Abaagala okusuuza Sheikh Shaban Mubajje office ensonga bazitutte wa Sipiika

Mar 18, 2025

ABASIRAMU abawakanya okulondebwa kwa Mufti  Shaban Ramathan Mubajje bafunvubidde okumuggya mu ntebe ne batuusa okwemulugunya kwabwe mu palamenti.

NewVision Reporter
@NewVision

ABASIRAMU abawakanya okulondebwa kwa Mufti  Shaban Ramathan Mubajje bafunvubidde okumuggya mu ntebe ne batuusa okwemulugunya kwabwe mu palamenti.

Sabiiti ewedde Mubajje yazzeemu okulayira ku kisanja kye kya myaka emirala etaano oluvannyuma lw’okuweza emyaka 70, ssemateeka waabwe kwabalagira okuwuumulira.

Leero, abasiramu nga bakulembeddwamu Ali Ndawula ssentebe w’abasiramu e Luwero babukerezza nkolola okutandika olugendo lwabwe okwolekera palamenti okuwa sipiika okwemulugunya wabula bano batuukidde ku bangali ya poliisi wakati mu bukuumi obwamanyi.

Ku geeti bakirizaako batono okuyingira era engeri sipiika n’omumyuka we gyebatadde mu ofiisi, bano batwaliddwa mu ofiisi evunanyiziddwa ku biwandiiko (Records procurement office) nga eno bamazeeko eddakiika eziwera era bavuddeyo nga okwemulunya kwabwe kukiriziddwa ne babaterako sitampu.

Ali Ndawula agambye nti kati webatuuse mu palamenti, ebyabwe biwedde era Mubajje bakumusuuzza entebe.

Ye Sulaiman Ssemakula yeebazizza nnyo pulezidenti Museveni okubabeerawo nga abasiramu era nga ono akunze bannayuganda okumuyiira akalulu mu 2026.

Kinajjukirwa nga 12 omwezi guno, Mubajje n’omumyuka we bazeemu okulayizibwa ng aba mufti ba Uganda wabula nga ekiwaayi ekiwakanya obukulembezze bwa bano kigamba tewaaliwo kulaga kwonna nga kati bagala palamenti eyabawa obuwumbi obusoba mu 2 okubaga ssemateeka waabwe okubayambako okufuumula bano.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});