NRM eyise abaabadde ba agenti ba Nambi mu kulonda kw'e Kawempe

Omwogezi w’ekibiina kya NRM, Emmanuel Ddombo yategeezezza nti ekibiina tekyakkirizza byavudde mu kulonda okwaliwo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde kuba kwetobekamu effujjo n’okubba obululu.

NRM eyise abaabadde ba agenti ba Nambi mu kulonda kw'e Kawempe
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision
#NRM #Kawempe #Agenti #Nambi

NRM eyise abaali ba agenti ba Faridah Nambi mu kulonda kw’okujjuza ekifo kya Kawempe North beeyanjule ku kitebe bayambeko mu kukung’aanya obujulizi bwe banaatwala mu kkooti nga bawakanya obuwanguzi bwa Erias Luyimbaazi Nalukoola owa NUP.

Dombo Ng'ayogera.

Dombo Ng'ayogera.

Omwogezi w’ekibiina kya NRM, Emmanuel Ddombo yategeezezza nti ekibiina tekyakkirizza byavudde mu kulonda okwaliwo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde kuba kwetobekamu effujjo n’okubba obululu.

 “ Tubayise bayambeko okutuwa obujulizi obunaanyweza omusango gwaffe gwe tugenda okutwala mu kkooti nga tuwakanya obuwanguzi bwa Nalukoola okulangirirwa ng’omubaka omulonde ow’ekitundu kino,” Ddombo bwe yategeezezza.

Kawempe North erimu ebifo omulonderwa 197, ekitegeeza nti ekibiina eky’amaanyi nga NRM mu mateeka kikkirizibwa okubeera n’abantu babiri ku buli kifo awamu mu bifo 197 babeera abantu 394 NRM b’eyisse.

 Ddombo yagambye nti baabayisse okujja ku kitebe kino buli kiseera bannamateeka b’ekibiina we banaaba babeetaagira nga batandika n’olwaleero (Lwakusatu).

 

Kino kiddiridde okusalawo okwakolebwa olukiiko olufuzi olwa NRM (CEC) olwatuula mu maka gw’Obwapulezidenti e Ntebe nga Nambi yaakawangulwa nga lwakubirizibwa ssentebe w’ekibiina era Pulezidenti w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni, ne basalawo okukung’aanya obujulizi bagende mu kkooti nga bawakanya obuwangizi bwa Nalukoola.

Gye buvuddeko, minisita omubeezi ow’abaana n’abavubuka mu ggwanga, Balaam Barugahara yategeezezza nti abamu ku b’ekibiina kya NUP baayambala ebyambalo by’ekijaasi ne bakola effujjo.