Kkansala wa NUP eyasibwa ku by'okubba Iphone awonedde watono ekkomera n'okusubwa okusunsulwa

KKANSALA wa NUP kata eby’okusunsulibwa okwesimbawo bigaane bw’ayitidde watono okuddizibwa mu kkomera ku bigambibwa nti yabba essimu y’omutuuze, ono oluyimbuddwa tazze waka asibidde ku kitebe e Kavule asunsulwe.

Kkansala wa NUP eyasibwa ku by'okubba Iphone awonedde watono ekkomera n'okusubwa okusunsulwa
By Peter Ssuuna
Journalists @New Vision
#NUP #Busega Kubumbiro #Kkansala #Ssimu #Misango #Mateeka

KKANSALA wa NUP kata eby’okusunsulibwa okwesimbawo bigaane bw’ayitidde watono okuddizibwa mu kkomera ku bigambibwa nti yabba essimu y’omutuuze, ono oluyimbuddwa tazze waka asibidde ku kitebe e Kavule asunsulwe.

Ssande Ddamba 46, kkansala akiikirira Busega Kibumbiro y’atuuyanidde mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ng’awanjagira omulamuzi Adams Byarugaba omutaasa ayimbulwe asobole okugenda okusunsulibwa okuddamu okukiikira abantu b’e Busega.

Matovu Alumiriza Ddamba Eyawaaba Omusango.

Matovu Alumiriza Ddamba Eyawaaba Omusango.

Ng’asaba okweyimirirwa, atuuse n’okuwaanyisiganya ebisongovu n’amuvunaana n’amulangira obubbi asuliridde okugobwa ku kyalo n’abaana be okusinziira ku lukiiko olwatuula.

Ddamba avunaanibwa ogw’okubba essimu ekika kya iPhone 12 Promax ne ssente enkalu emitwalo 20 okuva ku Yasin Matovu ssaako okulemesa Sam Kisitu okulonda nga byaliwo June 19, 2025 e Busega.

Matovu bwe yabuuziddwa kiki ekiyinza okulemesa Ddamba okuyimbulwa n’alya mu ttama!

Yategeezezza kkooti nti olw’okuba ye ssentebe wa NRM ku kyalo, abasajja ba NUP bazze bamuliisa akakanja nga bamukonjera ebigambo bingi nga baatuuka n’okumulaalika okumwokeza enju n’okumutta bw’ataave ku kuwagira Pulezidenti Museveni.

 

Ddamba ng’ayita mu munnamateeka we Asuman Ntale, yamwanukudde n’ategeeza kkooti nti Matovu kamwa koogera ye mubbi lukulwe nga yeekobaana ne batabani be okutigomya ekyalo era n’agamba nti olukiiko olwakatuuzibwa, lwayisizza ekiteeso nti ssinga baddamu okukwatibwa basindiikirizibwe bave ku kyalo olw’ebikolwa bino.

Omulamuzi Byarugaba yabasabye okuva ku by’obufuzi ebyawula era oluvannyuma n’awuliriza okusaba kw’okweyimirirwa.

Ssande ng’ayambibwako kkansala munne Ronald Mutumba eyamweyimirdde, yayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde 2 ezitali za buliwo omulamuzi omusango n’agusindika okutuusa nga September 3, 2025 lwe gunadda.

Tekirowoozebwa nti oba Ddamba yasoose kutuuka waka kuba yabadde alina okusunsulibwa era yasibidde Kavule ku NUP.