Flavia Namulindwa azzeeyo mu Amerika

Mar 25, 2025

MWANA MUWALA Flavia Namulindwa eyali omukozi ku Bukedde TV, azzeeyo mu Amerika ekulemberwa Donald Trump n’asekerera abaali bamwogerera ebitali bituufu.

NewVision Reporter
@NewVision

MWANA MUWALA Flavia Namulindwa eyali omukozi ku Bukedde TV, azzeeyo mu Amerika ekulemberwa Donald Trump n’asekerera abaali bamwogerera ebitali bituufu.

Namulindwa, abadde Uganda era ye ne taata w’omwana we, babadde n’okugugulana okwabatuusa mu kkooti, ku nnyumba ezisangibwa e Masanafu.

Waliwo abaagamba nti, kino kye kyamukomyawo okuva mu Amerika baleme kumutwalako bya bugagga. Kyokka abalala ne bagamba nti, ayagala kwesogga Palamenti ng’ayitira Gomba gy’azaalwa nga n’akaseera
w’abeeredde e Uganda nti, abadde ku ‘gulaawundi’ mu balonzi ng’akola kakuyege. 

Yalinnye ennyonyi n’adda gye yava wadde nga waliwo abagamba nti, okulonda kwa 2026 we kunaatuukira, ajja kuba akomyewo mbu era yeesimbewo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});