Biden avuddemu omwasi ku ngeri Trump gy'afuga Amerika
Apr 16, 2025
Biden asinzidde mu lukung'aana lwa bannamawulire mu kibuga Chicago

NewVision Reporter
@NewVision
PULEZIDENTI wa America eyawummula, Joe Biden ayogeddeko eri Abamerica omulundi okusoose bukya ava mu ntebe n'akolokota enfuga y'eyamuddira mu bigere, naggagga Donald Trump.
Trump bw'afaanana.
Biden asinzidde mu lukung'aana lwa bannamawulire mu kibuga Chicago, agambye nti nga n'ennaku 100 tezinnawera bukya obukulembeze obuggya budda mu buyinza, ebintu byonna bye bukoze bibadde bya kivandulo era bukosezza nnyo America n'ebyenfuna byayo olw'enkola y'okukekkereza ssente eyagala okuteekebwawo ng'ate erina bingi by'esuula.
Obama
Eyali Pulezidenti wa America omulala, Barack Obama naye asinzidde ku mukutu gwe ogwa X n'anenya obukulembeze bwa Trump n'agamba nti eky'okusala ku ssente Gavumenti z'esiga mu yunivasite enkulu eya Harvard University kyabadde kya bumenyi bwa mateeka era ekigenda okukosa eggwanga.
No Comment