ABATUUZE b’e Makindye Ssaabagabo balaze obutali bumativu eri abakulembeze baabwe olw’omwala ogugenda okubamalirawo abaana. Kino kidiridde abaana ababa bagenda ku ssomero okweyongera okugwa mu mwala Kaliddubi.
Omwana akyasembyeyo ye Shanita Nannyonga yagudde mu mwala ku Lwokuna nnyina bwe yamutute ku ssomero kyokka n’adda awaka okunona ppeni n’agwa mu mwala guno amazzi ne gamutwala.
Abatuuze beekozeemu omulimu ne beesondamu ensimbi ze baawadde abavubuka abanoonyezza omulambo ne baguzuula ku Lwomukaaga.
Sarah Nabaggala, omutuuze w’e Kabuuma yagambye nti kumpi buli nkuba lw’etonnya wabaawo omwana oluusi n’abantu abakulu abagwa mu mwala nga bagezaako okugusala okudda ku ludda olulala.
Okusinziira ku Nabaggala, omwala guno ogwa Kaliddubi guviira ddala Kajjansi ne guyita e Ndejje, Masajja, Gangu, Kabuuma, Kiruddu ne guyiwa mu nnyanja Nalubaale e Munyonyo.
Ssentebe wa Masajja B Wasswa Luwandagga yagambye nti waliwo omwaka ogumu, lwe baafiirwa abaana abasoba mu bana.
Omu ku bakulembeze ataayagadde kumwatuukirizza yagambye nti obuzibu obusinga buvudde ku bantu abeeyongedde okwesenza okumpi n’omwala.
Yagambye nti ekiviiriddeko abaana abangi okubeera nga bazannyira okumpi n’omwala.
Ssentebe wa divizoni ya Masajja, John Baptist Kiyaga yagambye nti bagenda kukola buli ekisoboka okulaba nga bateekawo obukubo obutonotono abantu bwe basobola okweyambisa nga basala nga bwe balindirira gavumenti ebasalire ku magezi.