Bakubaganye empawa ku kugula UMEME

Mar 25, 2025

WAZZEEWO okukubagana empawa ku muwendo gwa ssente omutuufu Gavumenti gw’erina okugula kkampuni y’amasannyalaze eya UMEME.

NewVision Reporter
@NewVision

WAZZEEWO okukubagana empawa ku muwendo gwa ssente omutuufu Gavumenti gw’erina okugula kkampuni y’amasannyalaze eya UMEME.
Kyaddiridde minisita omubeezi ow’ebyensimbi, Henry Musasizi okutwala okusaba mu kakiiko akavunaanyizibwa ku byenfuna akakubirizibwa Robert Migadde Ndugwa (Buvuma) ng’ayagala bakkirize Gavumenti yeewole obuwumbi 725 ez’okusasula UMEME.
Kyokka akakiiko kaagaanye okusaba kwe ne bamusaba asooke abawe lipooti okuva ew’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti eraga engeri gye baatuuse ku muwendo ogwogerwako.
Ekyatabudde ababaka ye minisita omubeezi owamasannyalaze Sidronius Okasai okutegeeza nga bwe bagenda okusasula obuwumbi 765 bwe baabadde mu musomo ogwategekeddwa ekibiina kya bannamakolero ekya Uganda Manufacturers Association e Lugogo.
Minisita w’ebyamasannyalaze n’obugagga obw’omu ttaka, Ruth Nankabirwa bwe yabadde mu kakiiko akakola ku by’obugagga by’omu ttaka ku Lwokubiri yagambye nti mu kiseera kino kizibu okumanya omuwendo gwennyini ogugenda okusaasaanyizibwa.
Yagambye nti ekiriwo mu kiseera kino bakolera mu kuteebereza kuba UMEME ekyalina ebintu by’eteekamu ssente bye balina okubala. Yawadde ekyokulabirako kya tulansifooma ennene gye baatadde e Ggaba ng’eriwo eyonoonese kuba endagaano gye balina kibakakatako okukola okutuuka ku lunaku olusembayo.
“Tewali kisaanye kweraliikiriza mu kiseera kino kuba byonna byalambululwa mu ndagaano Gavumenti gy’erina ne UMEME. Bwe kinaazuulibwa nga UMEME erina ssente z’erina okusasula ejja kuzikomyawo,” Nankabirwa bwe yagambye.
Omubaka Migadde yagambye nti ng’akakiiko bakyanoonyereza ku ngeri gye baatuuse ku muwendo gw’obuwumbi 725 era balinze lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti, wabula baagenze okuwulira ng’omuwendo gweyongedde, ekintu ekyabatabudde.
Obuwumbi 725 ez’okusasula UMEME olw’okusazaamu kontulakiti, Gavumenti eyagala kuzeewola mu bbanka ya Stanbic Bank.
UMEME ejja kukoma okukola nga March 31, olwo ekitongole kya Uganda Electricity Distribution Company Limited (UEDCL) kitwale emirimu gye babadde bakola.
Minisitule y’ebyamasannyalaze n’obugagga bw’omu ttaka eggulo yafulumizza ekiwandiiko ne balaga nti ekitongole kya UEDCL kyetegese okutandika nga April 1, 2025.
Mu kiseera kino minisitule y’ebyensimbi eri mu ntegeka ezisembayo ez’okwewola obukadde bwa doola za America 50 okuyamba ku mirimu gya UEDCL okutambula obulungi. Ekitongole kyamaze okufuna abakozi nga bayita mu nkola eyabaddemu obwerufu era nga basinziira ku busobozi bw’omuntu

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});