Nalukoola alayidde ; Ayagala kusisinkana pulezidenti ku by'emiggo egyakubwa abalonzi ; alayidde
Mar 26, 2025
Omubaka wa Kawempe North, Erias Luyimbazi, Nalukoola olumaze okukuba ebirayiro, ategeezezza nga bw’ayagala okufuna akadde akatongole abuuze pulezidenti Museveni ku mbeera ey’okutulugunyizibwa ebeera mu kukuba obululu kubanga nti ye ne bweguli kati ekyamutuukako kikyamulemye okwerabira

NewVision Reporter
@NewVision
Omubaka wa Kawempe North, Erias Luyimbazi, Nalukoola olumaze okukuba ebirayiro, ategeezezza nga bw’ayagala okufuna akadde akatongole abuuze pulezidenti Museveni ku mbeera ey’okutulugunyizibwa ebeera mu kukuba obululu kubanga nti ye ne bweguli kati ekyamutuukako kikyamulemye okwerabira.
Omubaka, Mukyala We N'omwana Nga Bayingira Palamenti. Ali Emabega Ku Kkono Ye Kitaawe.
Mu nnamuntikwa w’enkuba akedde okufudemba, Nalukoola ng’awekereddwako mukyala we Shakirah Nansukusa, muwala we Alma, kitaawe Sserugooti, Bobi Giant, Hajji Nasser Kibirige Takuba kw’ossa amyuka pulezidenti w’ekibiina ekitaba bannamateeka Anthony Asiimwe asobodde okukwata obudde okutuuka ewa sipiika wa palamenti Anita Among okukuba ebirayiro era nga kati mubaka mujjuvu.
Mu kusooka, sipiika Among asoose muyozaayoza wamu n’ekibiina kye olw’obuwanguzi n’agamba nti bulijjo alindiridde bbaluwa okuva mu kakiiko k’eby’okulonda ekakasa nti ddala Nalukoola ye yawangula.
Among alagidde kalaani wa palamenti Adolf Mwesigye okulaba nga omubaka aweebwa emmotoka enaamuyambako okukiikirira abantu be wamu n’ebyo ebiweebwa ababaka ebirala nga ssemateeka bw’alagira.
Among Ng'akwasa Nalukoola Ssemateeka N'amateeka Agafuga Entuula Za Palamenti.
Nalukoola ng’amaze okukuba ebirayo asabye sipiika okumuwa akadde ng’entuula za paalamenti zizzeemu asobole okwogera ku bizibu ebiruma bannakawempe kubanga emyaka egiyise tebakiikiriddwa nga bwe kyali kisuubirwa oluvanyuma lwa Muhammad Ssegirinya gwe yaddidde mu bigere okusibwa ate oluvannyuma n’alwala bwatyo nakirira ezira kkumwa.
Nalukoola agambye bwanafuna akadde akatuufu ayagala oyogereko eri pulezidenti Museveni mubutongole ku butujju obwamukolebwako, abakulembezze, abalonzi kwosa bannamawulire era nga ebibuuzo akyalina bingi ku mbeera eyaliwo.
Ye akulira oludda oluvuganya, Joel Ssenyonyi agambye kati ‘basimbudde’ kubanga bakyetaaga obwekanya ku ffujjo eryakolebwa mu kulonda ng’ayagala bannamawulire baliyirirwe era bajjanjabwe kubanga bangi bakyali ku miggo.
Akuutidde Nalukoola nti bamusuubiramu bingi nnyo, kubanga mulwanyi namigge ate mukulembezze wa nsonga nga n’olwekyo bamulinamu esuubi nti bingi bye bagenda okutuukako mu palamenti eno ng’ali ku luuyi lwabwe.
No Comment