Abajulizi ba Nambi bamutabudde Nalukoola n’asaba kkooti aleete abalala

May 09, 2025

MUNNAKIBIINA kya NRM Faridah Nambi ayongedde okutabulwa mu musango gwe yawawaabira Elias Nalukoola ng’amulumiriza okumubba akalulu mu kulonda kw’okujjuza ekifo kya Kawempe North ekyalimu omugenzi Muhammad Ssegirinya.

NewVision Reporter
@NewVision

MUNNAKIBIINA kya NRM Faridah Nambi ayongedde okutabulwa mu musango gwe yawawaabira Elias Nalukoola ng’amulumiriza okumubba akalulu mu kulonda kw’okujjuza ekifo kya Kawempe North ekyalimu omugenzi Muhammad Ssegirinya.
Omusango guli mu maaso g’omulamuzi Benard Namanya owa kkooti enkulu ey’engassi ng’eno, Nambi ng’ayitira mu bannamateeka be abakulemberwa Ahmed Kalule Mukasa awakanya obuwanguzi bwa Nalukoola. Omusango guno guli ku mutendera buli ludda we luleetera obujulizi wabula Kalule yeemulugunyizza eri kkooti nga Nalukoola bwe yaguliridde abajulizi be ne beegaana obujulizi bwe baabawa nga kino Kalule agambye bakikoze mu bumenyi bw’amateeka.
Agambye nti balina kulinda bajulizi abo babaleete mu kkooti olwo balyoke babasoye ebibuuzo bye baagala nga bali mu kkooti so si ate kubakubisa ebirayiro nga beegaana obujulizi bwe baawa nga bwe bumu bwe baateddeyo mu kwewozaako kwabwe.
Wabula ne bannamateeka ba Nalukoola okuli Mohamad Mbabazi, Alex Luganda, Samuel Muyizzi, George Musisi ne Remmy Bagyenda baawakanyizza ebyogerwa Kaluleku bajulizi, abeegaana obujulizi bwe baawa Nambi.
Baagambye baleke kkooti ereke abajulizi bano bajje mu kkooti basoyezebwe ebibuuzo lwaki beegaana obujulizi bwe baasooka okuwa era babuulire kkooti oba baagulirirwa nga Kalule bw’agamba.
Abajulizi abaleese obuzibu kuliko; Nathan Jjemba, George Mawumbe ne Ben Mukasa Ntale nga bano Kalule agamba nti bannamateeka ba Nalukoola babatuukirira ate ne beegaana obujulizi bwe baawa Nambi mu musango guno. Oluvannyuma lwa kkooti Nalukoola akontodde Nambi nga bw’ali mu kumumalira ebiseera kuba ekimanyidde ddala nti yamuwangula mu kalulu kano era yakkiriza obuwanguzi bwe, bwe baali ku muzikiti gwa Mbogo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});