Olutalo mu DP nga balonda Pulezidenti w’ekibiina addakoOlutalo

May 09, 2025

ENDAGAANO ssenkaggale wa DP, Nobert Mao gye yakola ne Pulezidenti Museveni, efuuse ensonga mu keetereekerero k’aba DP okulonda obukulembeze ng’ekibiina kyetegekera akalulu ka 2026.

NewVision Reporter
@NewVision

ENDAGAANO ssenkaggale wa DP, Nobert Mao gye yakola ne Pulezidenti Museveni, efuuse ensonga mu keetereekerero k’aba DP okulonda obukulembeze ng’ekibiina kyetegekera akalulu ka 2026.
Mao yaggyeeyo empapula okuddamu okwesimbawo ku bwapulezidenti ng’asuubizza okutuusa ekibiina mu buyinza bw’eggwanga kyokka abamwesimbyemu naddala ababaka Richard Ssebamala ne Dr. Lulume Bayiga, endagaano ya Mao ne Museveni gye bafudde ‘kibooko’ gye bakubisa Mao abaviire ku kubiina kya bajjajjaabwe.
Okuggyayo empapula ezisaba ebifo kwawedde ku Lwokubiri ng’abantu bana be baggyeyo. Kuliko Mao, Ssebamala, Dr. Lulume ne Eria Alitia. Ku bumyuka; kuliko Mukasa Mbidde. Ku bwogezi kuliko Okoler Emanu ne Brian Lukumbuka. Avuganya ku bwa ssaabawandiisi kuliko Gerald Siranda, Ismail Kirya n’omubaka David Lumu. Ekya ssentebe kuliko Dr. Mayambala Kiwanuka ne Gilbert Sami. Ku buwanika kuliko Mary Babirye Kabanda ne Zumula Kasirye. Abakyala kuliko Idah Nakuya, Sarah Adongo ne Annet Nakyanja.
ENDAGAANO
Abamu ku baabadde bakulembera ne Mao ku lukiiko nabo si bamativu ku ndagaano Mao gye yakole ne Pulezidenti Museveni gye balumiriza nti yali yakigumaaza era bo bagibala ng’etabangawo.
Omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina, Fred Mukasa Mbidde yagambye nti endagaano kyali kigumaaza kuba byonna ebyassibwa mu buwaayiro tewali kyakolebwa.
Nga May 30, 2025, ekibanyi lwe kigwa n’amenvu mu ttabamiruka w’ekibiina e Mbarara, aba DP mu Uganda gye bagenda okukuhhaanira okukyusiza obukulembeze era abaagala okusiguukulula Mao kampeyini zaabwe bazeesigamizza ku ndagaano eyakolebwa nti yadibaga ekibiina.
ABAAGALA EKYA MAO
l Richard Ssebamala: Mubaka wa Bukoto Central ayagala bwapulezidenti wa DP asobole okusitula ekibiina nti kuba Mao ne banne bakinnyise. Azze atuuza enkiiko za bannamawulire ng’agamba nti ye yekka asobola okukyusa buli kimu. Yalangiridde nti endagaano eteekwa kukoma nga May 30 olunaku lwe bamulonda nga pulezidenti.
l Dr. Lulume (Buikwe South): azze yeegeza mu kifo kya pulezidenti wa DP kyokka nga bamuwangula. Awakanya endagaano Mao gye yakola ne Pulezidenti Museveni. Lulume y’omu ku baatandikawo ekibiina ky’abavubuka ba DP ekya UYD
Kyokka ssentebe wa DP, Dr. Mayambala Kiwanuka yasekeredde abalowooza ku kukyusa obukulembeze bwa Mao n’abagamba nti be balabe b’ekibiina kuba mu kifo ky’okukitunda ate bakyogerera mafuukuule.
Omwogezi w’ekibiina, Opio Emanu yagambye nti buli eyaggyeeyo empapula alindirire olunaku lw’okulonda naye eby’okuvumirira obukulembeze abiveeko. Akakiiko akakola ku kulondesa mu DP kakulirwa Kennedy Mutenyo era abavuganya ku bifo balindiridde kiva mu kakiiko okwekenneenya empapula.
Wabula eyawakanya okulonda okwaggwa, Benedicto Galiko Kiwanuka na kati akyali mu kkooti era ye agamba nti n’okulonda kuno kutegekeddwa mu bukyamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});