Akabinja k’abavubuka kateeze eyakoledde batuuze banne akabaga ne bamutta
May 09, 2025
ISA Busobola 45, yategekedde batuuze banne akabaga ku Lwokusatu nga tewali ayinza kukirowoozaako nti lwe yabadde asemba okubalabako!

NewVision Reporter
@NewVision
ISA Busobola 45, yategekedde batuuze banne akabaga ku Lwokusatu nga tewali ayinza kukirowoozaako nti lwe yabadde asemba okubalabako!
Mu kiro ekyo bwe yabadde adda ewuwe abazigu ne bamuzingiza ne bamukuba n’afa nga bamutwala mu ddwaaliro.
Busobola abadde mutuuze ku kyalo Kito e Matugga mu munisipaali y’e Nansana.
Kigambibwa nti ettemu lyabaddewo ku ssaawa 5:00 ez’ekiro era abazigu baamuteeze bwe yabadde adda ewuwe ne bamukanda ssente bw’ataazibawadde ne bamukuba n’okumufumira ebiso ebyamusse.
Abaabadde ku kabaga baategeezezza nti Busobola eyabadde omusanyufu eby’ensusso yabagabudde ebyokulya n’ebyokunywa okwabadde bbiya ne sooda.
Akabaga bwe kaawedde ’asasula ab’ebidongo n’adda ewuwe awaabadde okumpi n’akatawuni k’e Kito akabaga we kaabadde.
Kigambibwa nti mu kugenda, waliwo abavubuka abamanyiddwa nga aba Kasolo Group abaagenze bamugoberera, nga kuliko ne Richard Asaba gw’abadde abeera naye awaka.
Nti bwe baatuuse mu kkubo ne batandika okumukanda ssente. Yabagambye nti talinaawo n’abasaba bagende awaka abawe eziriyo naye tebaamuwulirizza ne bamukuba
n’okumufumita ebiso.
Omu ku batuuze, Thomas Kibirige yategeezezza nti waliwo eyalabye abavubuka nga bakuba Busobola eyatemezza ku batuuze ne bajja okumutaasa wabula baasanze akubiddwa nnyo.
Baamuyoddeyodde okumutwala mu ddwaaliro lya Wanda Health Centre e Matugga kyokka n’afa nga yaakatuusibwayo.
Busobola awezezza omuwendo gw’abantu bana abaakattibwa e Matugga mu bbanga lya myezi etaano. Abattiddwa mu ngeri ng’eno kuliko; eyategeerekekako erya Isma, Ronald Musisi ne Godfrey Kabajja eyattibwa nga March 9,2025. Abatuuze eggulo baakoze omuyiggo ne bakwata Asaba gwe baagwikirizza ng’asalinkiriza okuyingira mu kabuga k’e Wattuba yeekweke era akuumirwa ku poliisi. Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti poliisi etandise okunoonyereza era engeri Asaba gye baamukutte ajja kubayamba okukwata n’abalala abeenyigidde mu ttemu lino.Omugenzi waakuziikibwa mu disitulikiti y’e Kakumiro ku Lwokutano
No Comment