Nandala Mafabi neAmuriat battunka ku kaadi ya FDC okuvuganya ku Bwapulezidenti

May 09, 2025

AKAKIIKO k’ebyokulonda mu kibiina kya FDC e Najjanankumbi, kamalirizza okusunsulamu Nandala Mafaabi ne Patrick Oboi Amuriat okulondako anaakwatira ekibiina bendera mu kalulu k’okulonda pulezidenti w’eggwanga aka bonna aka 2026.

NewVision Reporter
@NewVision

AKAKIIKO k’ebyokulonda mu kibiina kya FDC e Najjanankumbi, kamalirizza okusunsulamu Nandala Mafaabi ne Patrick Oboi Amuriat okulondako anaakwatira ekibiina bendera mu kalulu k’okulonda pulezidenti w’eggwanga aka bonna aka 2026.


Mafabi mu kiseera kino akola nga ssaabawandiisi w’ekibiina ate Amuriat ye pulezidenti wa FDC era basunsuddwa ku kifo kino, Toterebuka Boniface akulira eby’okulonda ku Lwokusatu ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi. Oluvannyuma lw’okutuukiriza ebyetaago okuvuganya ku kifo kino okwabadde obukadde butaano, ebiwandiiko ebibakwatako n’ebbaluwa z’obuyigirize bwabwe baakwasiddwa akakiiko k’ebyokulonda ebibakakasa nti baakuvuganya mu kusunsulamu anaakwatira ekibiina bendera.
Amuriat oluvannyuma lw’okusunsulwamu yatenderezza obwerufu obuli mu kibiina n’agamba nti FDC ekkiririza mu buli muntu okuvaayo n’avuganya kasita atuukiriza ebyetaago.
Yasuubizza bannakibiina okuzannya obulungi ebyobufuzi bye awatali kusiiga gw’avuganya naye ttoomi kuba naye mu kiseera kino ebirungi by’akoledde ekibiina byeyogerera nga kimumala okumuwa obwesige okuddamu okuvuganya ku bwapulezidenti. Yasabye akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina okusigala nga keerufu mu kiseera kye bagenda okukungiramu abantu n’obudde babukendeeze obwa kakuyege okuva ku myezi esatu okudda ku mwezi gumu n’ekitundu.
Ate Nandala oluvannyuma lw’okusunsulwa yagambye nti ye muntu omutuufu okuvuganya ku bwapulezidenti n’asaba pulezidenti Museveni okudda ebbali mu mirembe kuba obudde bwe buweddeyo naye kye kiseera okuddaabiriza ebyayonoonebwa mu ggwanga.
Amuriat bw’anaabeera akakasiddwa okukwatira ekibiina bendera mu kalulu ka bonna mu 2026, guno gujja kubeera mulundi gwe gwakubiri okwesimbawo ku bwapulezindenti bw’eggwanga oluvannyuma lw’okwesimbawo era ku tiketi ya FDC mu 2021 n’afuna obululu 337,589 ate ye Nandaala gujja kuba mulundi gwe ogusoose.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});