Amawulire

Kitalo! Abazigu basse owa Securiko omulambo gwe ne baguwanika ku muti oguli mu luggya lwe!

Abantu abannamanyika,basse omukuumi w'e kitongole ky'obwannanyi, omulambo gwe ne baguwanika ku muti gw'omuyembe poliisi kw’egusanze.

Kitalo! Abazigu basse owa Securiko omulambo gwe ne baguwanika ku muti oguli mu luggya lwe!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abantu abannamanyika,basse omukuumi w'e kitongole ky'obwannanyi, omulambo gwe ne baguwanika ku muti gw'omuyembe poliisi kw’egusanze.

Bibadde mu zzooni ya Kibira Cell A e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, abantu abatannamanyika bwe basse omukuumi oyo, omulambo ne baguwanika mu luggya lw'ennyumba y'omugenzi Herbert Ttaaka ku muyembe awali ofiisi zaabwe.

Kigambibwa nti omugenzi, basoose kumubbako pikipiki kw'abadde atambulira era nga poliisi okuva mu Kikajjo, yazze n'eggyawo omulambo n'egutwala mu ggwanika e Mulago, ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Ssentebe wa LC 1 mu kitundu ekyo Herbert Kavuma, agambye nti tebannamanyira ddala kiki ekiyinza okuba nga kye kyavuddeko okufa kwe.

Tags:
Mukuumi
Muti
Kuwanika
Securiko
Mulambo