Poliisi e Mukono esanze akaseera akazibu okukwata Waibi Livingstone nga ono muvuzi wa boodabooda mu kibuga Mukono ssaako n’abaanabe babiri okuli Kwagala Percy (8) nga ono ali mu kibiina kya kubiri ne Linda Gift (10) nga ono ali mu kibiina kya kusatu nga bano batuuze ku kyalo Kiwala mu ggombolola ye Nama mu district ye Mukono.
Ono yakutte abaana be babiri ne yeekalakaasa wakati mu kibuga ku luguudo oludda e Jinja ng'alumiriza polisi obutamuyamba ku mugagga amanyikidwa nga Swabiru Matende akolagana n’ababbi ne babatwaalako pikipiki zaabwe.
Poliisi ezze n’ekabangali yaayo ne bakwata abaana ssaako ne taata abadde awanise ekipande ne bateeka ku kabangaali wakati mu miranga okuva eri taata n’abaana nga asaba gavumenti emuyambe kuba takyalina mirimu gisobola kutwala baana ku ssomero lwakuba pikize 2 ezaali zibawerera zabbibwa.
Oluvanyuma polisi ebatade ku kabangali ne batwala ku polisi e Mukono.