Ebivaako ebizimba mu bakyala ne kw’obirabira
Mar 27, 2025
ABAKYALA balina omulimu gw’okuzaala wabula basoomoozebwa embeera naddala ez’endwadde omuli n’ebizimba mu lubuto n’oluusi ebibalowoozesa nti mulimu omwana, bangi ne bakitwala nti, baazibasibirako so nga bulwadde.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAKYALA balina omulimu gw’okuzaala wabula basoomoozebwa embeera naddala ez’endwadde omuli n’ebizimba mu lubuto n’oluusi ebibalowoozesa nti mulimu omwana, bangi ne bakitwala nti, baazibasibirako so nga bulwadde.
Halima Muwanguzi, agambibwa okumala n’olubuto emyaka 8 ng’alowooza baalumusibirako so nga bizimba, yalongooseddwa ne babiggyamu era ajjanjabwa. Dr. Andrew Echuman, omusawo omukugu mu nsonga z’abakyala ku ddwaaliro ekkulu e
Rakai, agamba nti:
Singa omukyala afuna okulumizibwa mu lubuto okutatadde, embeera eno ebeera eraga nti, yandiba ng’alina ebizimba.
Okugenda mu nsonga z’ekikyala okw’omuddiriηηanwa gamba nti, okulwala emirundi ebiri mu mwezi gumu nga kw’otadde okuvaamu omusaayi omungi nakyo kyongera okukulaga ntim wandiba n’ebizimba mu lubuto.
Okuzimba olubuto mu ngeri eteri ya bulijjo nako kabonero akayinza okukwoleka nga
olina ebizimba mu lubuto.
Obulumi mu bisambiekivaako n’abakyala bangi okuzibuwalirwa mu kutambula nga
n’olumu kibaleetera obuzibu mu
kufuluma.
Singa omukyala alumizibwa buli lw’agenda mu kikolwa ky’okwegatta emikisa gy’okuba n’ebizimba giba mingi.
OBUZIBU BW’OFUNA NGA TOJJANJABIDDWA MANGU
Omukyala asobola okuggyibwaamu nnabaana ekikendeeza ku buwangaazi bwe.
Ebizimba bino ebiseera bingi bireetera omukyala okuvaamu embuto n’alemererwa n’okuzaala.
Okuzaala omwana nga tannatuuka.
Ebizimba biremesa omukyala okufuna olubuto.
Oluusi bivaako omukyala okuvaamu omusaayi omungi n’abamu okufa. Wabula singa omukyala alongoosebwa asobola okuddamu n’afuna olubuto. Musawo Flavia Nabasumba ow’eddwaaliro lye limu agamba nti, singa ekizimba kikwata mukifo ekitavunaanyizibwa nnyo mu kutonda mwana, omukyala addamu n’afuna olubuto era n’azaala Singa ekizimba kiba kikyali kito nga tekinnagejja era omukyala
asobola bulungi okufuna olubuto.
EBIVAAKO EBIZIMBA
Dr. Echuman, agamba nti, ebizimba mu bakyala ensangi zino bivudde ku ddagala erisusse lye bamira ne we kiteetaagisiza olw’okumala gagula nga tebasoose kulaba
basawo bakugu kubaluηηamya.
Omukyala okulwawo okuzaala, nakyo kivaako omukyala okufuna ebizimba by’omu lubuto.
Okukozesa ebiragalalagala omuli; omwenge, sigala, amayirungi
n’enjaga nabyo byongera okukosa omubiri gw’omukyala ekireeta ebizimba.
Abawala oba abakyala abanguwa okugenda mu nsonga nakyo bakugu bagamba
nti, kiyinzaokuvaako omukyala okufuna ebizimba mu lubuto.
Omugejjo mu bakyala ssaako abo abalina emibiri eminene nabo abasawo bakiraga nti, kyangu okufuna ebizimba olw’embeera y’emibiri gyabwe obutasobola kwerwanako.
Obutalya nva ndiirwa:
Abakyala singa tebettanira nva ndiirwa omuli; nnakati, doodo, essunsa n’ebirala ebiyamba omubiri okwerwanako n’okufuna ebiriisa ebyetaagibwa mu mubiri bafuna ebizimba.
Mu bakyala abamu, bitambulira mu musaayi.
Abakyala abakuliridde mu myaka nabo emikisa gy’okulwala ebizimba mu lubuto giba mingi olw’ensonga nti, emibiri giba gyeyongedde okunafuwa.
Abakyala abalina obwagazi obusukkiridde mu bikolwa by’okwegatta
nabo batera okufuna ebizimba.
Okulya ennyo ennyama y’ebisolo nakyo kivaako okulwala ebizimba.
No Comment