Abatuuze b’e Masaka bakaaba lwa bubbi bwa waya z’amasannyalaze
Mar 28, 2025
ABATUUZE ku byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwunga e Masakabanyiivu olw’obubbi bwa waya z’amasannyalaze obukudde ejjembe.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATUUZE ku byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwunga e Masaka
banyiivu olw’obubbi bwa waya z’amasannyalaze obukudde ejjembe.
Beemulugunyizza nti, obubbi bwa waya buvudde amasannyalaze okuvaavaako ekitaataaganyizza emirimu gyabwe.
Kkansala Resty Nabbona akiikirira omuluka gw’e Gulama ku ggombolola y’e Buwunga, yategeezezza nti, abatuuze mu byalo by’akiikirira, mu kiseera kino batambulira mu bweraliikirivu nti, essaawa yonna bandirumbibwa abazigu ne banyagulula ebyobugagga byabwe ne watabaawo wadde ayamba olw’ekibululu kye balimu.
Yategeezezza nti, olw’okubam ekitundu kyabwe kiri kumpi n’ebibuga, kyanguyira abamenyi bamateeka okukyekwekamu kyokka kino kibadde kyakendeera kuba babadde n’amasannyalaze kyokka kirabise olw’obubbi bwa waya obuli mu kitundu kyabwe. Jane Nakato, akiikirira eggombolola y’e Buwunga ku lukiiko lwa disitulikiti y’e Masaka, yategeezezza nti, oluvannyuma lw’amasannyalaze okutuuka mu kitundu kyabwe,
abantu beewoze ssente mu bitongole eby’enjawulo ne batandikawo obukolero obusunsula emmwaanyi, kasooli n’ebibala eby’enjawulo ekibadde kiyambye okuwa abaana enzaalwa emirimu kyokka mu kiseera kino bakeera kutuula olw’amasannyalaze agatakyaliko. John Kavuma Ssekasiko, ssentebe w’eggombolola y’e Buwunga
yagambye nti, obubbi bwa waya mu kitundu kye businze kukosa miruka okuli ogw’e Kibonzi ne Gulama ng’abakikola balumba mu kiro. Yategeezezza nti, amaze okutegeeza ku bitongole ebikwatibwako omuli eby’ebyokwerinda ne Umeme ne bamusuubiza okuyambako.
Yasabye abatuuze okukwatagana n’abakulembeze mu kusaasaanya amawulire ku kitundu ekibeera kirumbiddwa
No Comment