Muky. Museveni abasiimye ku tekinologiya
Mar 28, 2025
MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni atenderezza enkulaakulana ereeteddwa okuvumbulwa kwa tekinologiya ow’omulembe, kyokka n’asaba wabeerewo ekikolebwa ereme kufuuka kizibu.

NewVision Reporter
@NewVision
MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni atenderezza enkulaakulana ereeteddwa okuvumbulwa kwa tekinologiya ow’omulembe, kyokka n’asaba wabeerewo ekikolebwa ereme kufuuka kizibu.
Bino yabyogedde aggulawo ttabamiruka w’ebyenjigiriza eyategekeddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku byenjigiriza ebya waggulu ogwetabyemu amatendekero ag’enjawulo ku Hotel Tringle mu kibuga Mbarara.
Muky. Museveni yagambye nti tekinologiya ayambye nnyo okutumbula okunoonyereza ekintu ekyongedde enkulaakulana. Kyokka kirungi aleme kumalako bantu mirimu n’okweyambisibwa obubi.
Ttabamiruka yategekeddwa wansi w’omulamwa gw’enkola ya Artificial Intelligence (AI) ekozesa tekinologiya n’akola emirimu egyenjawulo egirimu okulowooza, okuzuula ebitalabika n’okuyigira ku by’emabega.
Akulira Victoria University, Polof Lowrance Muganga yategeezezza ng’abantu bwe bateekeddwa obutatya nteekateeka eno kuba eyamba nnyo okwongera ku kunoonyereza.
Omubaka James Kubeketerya (Bunya East) era ssentebe w’akakiiko ka Palamenti ak’ebyenjigiriza yasabye amatendekero okufaayo okusomesa ebintu ebizimba eggwanga n’ebitumbula embeera z’obulamu bw’abantu.
No Comment