Ekikangabwa kigudde ku kyalo Nabyewangwa mu ggombolola y’e Kkingo mu disitulikiti ey’e lwengo omuliro bwe gukutte ennyumba abaana babiri ne bafiiramu.
Ennyumba Abaana Mwe Baafiiridde.
Abafudde kubaddeko Mirembe Monica ow’emyaka 5 ne Mugisha Aloysius ow’emyaka 6 kw’ossa ne kaawonawo Akizimaana Ntonio ow’emyaka 9 asimattuse n’ebisago.
Kigambibwa nti maama waabwe Nambuusi Rosemary yabasibidde mu nnyumba n’agenda ku kyalo ekirala okutwalira bba emmere yagenze okukomawo nga emiranga gy’abadduukirize n’omuliro bye bimwaniriza .
Omuliro guno kigambibwa nti gwavudde ku musubbaawa ogwalekeddwa nga gwaka ku saawa 3:00 ez’ekiro era Akizimaana Ntonio bwe yalabye nti omuliro gukutte n’aguyitamu nga bw’akuba enduulu.
Maama W'abaana Abaafudde, Nambuusi (ku Ddyo) N'abamu Ku Bakungubazi.
Eky’omukisa omubi abadduukirize baagenze okujja nga banne ababiri baafudde dda.
Poliisi olutuuse, mu kwanguyiriza okuggyawo ebisigalira by’abagenzi yeerabiddewo ebimuu, abantu ne bagirangira okwagala nnyo ensimbi.
Taata w’abagenzi oluwulidde nti abaana be bafudde atuukiddewo kyokka asanze poliisi emaze okuggyawo emirambo ne yeegayirira abazirakisa okumuyamba ng’agamba talina kantu konna k’asigazza.
Ssentebe w’ekyalo kino, Stephen Lukwago anenyezza abazadde olw’obugayaavu era n’abasaba obutabaako gye baloopa kuba be bavuddeko okufa kw’abaana baabwe.
Ate ssentebe w’eggombola eno Kibira Alyosius asabye abazadde okuba abeegendereza ku baana baabwe nga babatangira ebintu ebivaako omuliro n’ebyo ebiyinza okubaviirako okufa omuli obutwa n’eddagalala lye baleka mu mayumba gaabwe.
Kibira anenyezza poliisi eyalemye okutuuka mu budde olw’obutaba na ntambula bw’atyo n’asaba gavumenti eyongere empeereza mu kitongore kyayo.
Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Taha Kasirye akakasiza okufa kw’abaana bano nga bwe kwavudde ku muliro ogwakolezeddwa omusubbaawa bw’atyo n’alabula abazadde okukomya okusibiranga abaana mu mayumba nga tebaliiko muntu mukulu abasigademu. Oluvannyuma emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro ekkulu e Masaka.