Bakumye omuliro ku nju ne mufi iramu bbebi

ABATUUZE ku kyalo Nakyesanja e Kawanda ekisangibwa mu divizoni y’eNabweru mu Wakiso bafunye ekyekango omuliro bwe gukutte ennyumba ya munnaabwe ne gwokya bbebi ow’omwaka ogumu n’ekitundu ’afi iramu.

Bakumye omuliro ku nju ne mufi iramu bbebi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATUUZE ku kyalo Nakyesanja e Kawanda ekisangibwa mu divizoni y’e
Nabweru mu Wakiso bafunye ekyekango omuliro bwe gukutte ennyumba ya munnaabwe ne gwokya bbebi ow’omwaka ogumu n’ekitundu ’afi iramu.
Omuliro gwakutte ennyumba ya Bbbosa Ssengendo 38, ne Juliet Namutosi ne mufi iramu mutabani waabwe Michah Nvule.
Bbosa yategeezezza nti gwakutte ku Lwamukaaga akawungeezi ng’agenze ku luzzi ate maama w’omwana ng’agenze ku dduuka. Abadduukirize baagambye nti gwatandikidde mmanju waggulu ku miti ekiraga nti gwakumiddwa muntu. Bbosa yagambye nti ettaka lino  ya ffamire wabula liriko enkaayana nga waliwo babbulooka b’ettaka abeekobaana n’aba ffamire abaagala okulitunda era ensonga ziri mu kkooti e Nabweru, nga leero (Mmande) omusango lwe gulina okuddamu. Omwogezi wa poliisi mu Kampala ’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti poliisi etandise okunoonyereza
ku nsonga zino. Omulambo gukyakuumirwa mu ggwanika e Mulago.