DFCU ereese enkola ya Xclusive Banking
Mar 29, 2025
BANK ya DFCU etongozza enkola etuumiddwa DFCU Xclusive Banking nga eno egendereddwamu okwanguyiza ba kasitooma baayo abatereka ensimbi ennyingi okufuna obuweereza obw'enjawulo.

NewVision Reporter
@NewVision
BANK ya DFCU etongozza enkola etuumiddwa DFCU Xclusive Banking nga eno egendereddwamu okwanguyiza ba kasitooma baayo abatereka ensimbi ennyingi okufuna obuweereza obw'enjawulo.
Bino bibadde ku mukolo ogutegekeddwa ku woteri ya Serena mu Kampala nga gwetabiddwako bakasitooma baabwe ab'enjawulo okuli bannamakolero,abasuubuzi n'abalala okubadde amyuka ssenkulu wa bank ya Uganda Augustus Nuwagaba,ssenkulu wa bank eno Charles Mudiwa ne ssentebbe w'olukiiko oludukanya bank eno Winfred Tarinyeba Kiryabwire
Abakungu ba Bank ya DFCU batongoza enkola ya Xclusive Banking
Ssenkulu wa wa bank eno Charles M. Mudiwa ategeezezza nti enkola eno tekoma ku kuweereza buweereza wabula eteekawo ekyenjawulo eri abo abagenda okuba nga bagikoseza okujja ku mutindo gaabwe nga abantu oba amakolero gaabwe era nga yakuyambako ba kasitooma ba Bank okuteekawo emikululo egy'enjawulo kw'ebyo byebaagala okukola era byebafunamu.
Ate ye ssentebbe w'olukiiko olukulembera bank eno Prof. Winifred Tarinyeba Kiryabwire, ategeezezza bank zewadeyo okusitula entereka y'ensimbi eri ba kasitooma abasukuluma kubannabwe mu kutereka nga babateerawo enkola ezibanguyiza okufuna obuwereza nga DFCU kino yekisobola olw'obukugu obwe myaka 60 gyebamaze nga basitula abantu abenjawulo sako ne business.
No Comment