URA Yakukung'aanya obuwumbi 36,710 mu mwaka gw'ebyesimbi ogwa 2025/26

Apr 01, 2025

MINISITA omubeezi ow’eyensimbi Henry Musasizi ategeezezza nti omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2025/26 ekitongole ekivunanyizibwa kukunganya omusolo kya kusolooza omusolo ogubalirirwamu obuwumbi 36,710..

NewVision Reporter
@NewVision

MINISITA omubeezi ow’eyensimbi Henry Musasizi ategeezezza nti omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2025/26 ekitongole ekivunanyizibwa kukung'aanya omusolo kya kusolooza omusolo ogubalirirwamu obuwumbi 36,710.

Musasizi okwogera bino abadde alabiseeko mu kakiiko Ka palamenti ak’ebyensimbi wamu n’akulira ekitongole kya URA John Musinguzi Rujoki  okwanja embaliririra y’ekitongole ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Ebiwandiiko ebireteddwa ekitongole kya URA biraze nti ekitongole kibadde kyakuganya obuwumbi 35,692 kyokka embaliririra eyaletebwa mu palamenti balaga nti ekitongole kirina okukuganya obuwumbi 36,710.

Ababaka nga bali mu kakiiko

Ababaka nga bali mu kakiiko

Akulira ekitongole kya URA John Musinguzi Rujoki ategeezezza nti bateekateeka okutukiriza obuvunanyizibwa buno nga basomesa abantu misolo bamanye obuvunanyizibwa bwabwe.

Rujoki era ategeezezza nti okumalawo okusiika omuguwa nabasubuuzi Ku nkola eya EFRIS bateekateeka okusaba palamenti okukola enongosereza mu ngasi ebadde etekebwa kubasuubuzi abatajikozesa  nga omulimu gwo kubasomesa enkola eno bwegugenda mu maaso

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});