KATIKKIRO wa Uganda, Robinah Nabbanja atutte essaawa munaana ng’alambula awakolwa enguudo n’emyala mu Kampala n’awa bakontulakita nsalessale okuzimaliriza oba si kyo Gavumenti esazeemu kontulakiti zaabwe.
Nabbanja eyawerekeddwaako Minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda, Minisita omubeezi ow’ebyenguudo Musa Echweru, kulira KCCA Sharifah Buzeki ne bayinginiya b’ekibuga ne batalaaga buli awalina okukolebwa naye ng’emirimu gigenda kasoobo.
Bakira buli w’atuuka nga tewamusanyusa, era obwedda asoya bakontulakita kajjogijjogi
w’ebibuuzo ng’abasinga batamattama nga bw’abalagira bamugoberere okutuusa lwe yamalirizza ebifo byonna olwo n’abatuuza mu ofiisi ye n’atandika okubakunya.
We yatuukidde okudda mu ofiisi ng’alambudde ebifo okuli: Bwaise, Kyebando, Sir. Apollo Kagwa Road, Sir Albert Cook Road (Mengo), Sentema Road, Masanafu, Nabulagala, Salaama- Kiruddu Road ne Kinnawattaka. Olwatudde mu ofiisi ye yatandikidde ku mumyuka wa dayirekita wa KCCA avunaanyizibwa by’enguudo, Eng.
Maurice R. Kairania n’amulangira obunafu n’okuba omulyake olw’okukukutanga ne bakontulakita abalina okukola enguudo n’atabateeka ku nninga kwanguya
mirimu gyabwe.
Mu kwanukula, Kairania yalemeddwa okulambulula nsonga ezivuddeko akasoobo
n’alagirwa okwogera ne bakontulakita bonna akole lipooti Minisita wa Kampala gy’anaayanjulira Kabineti. Yalagidde bakontulakita bonna bateekewo ebyuma n’ebitaala
ebibasobozesa okukola ekiro ne ku wiikendi. Mu kwewozaako, yinginiya wa kkampuni ya China Railway 18th Bureau Group (CR18G) abaddaabiriza mu kibangirizi kya annamakolero, Henry Busolu Namisi, yasabye KCCA okubayambako ku kizibu ky’enguudo ng’amabbali gaazo wansi mulimu emidumu gy’amazzi, egya kazambi, amasannyalaze, n’ebirala bye batasobola kuyiikuula nga tewannabaawo kukkaanya na babivunaanyizibwako. Nabbanja yalagidde nti, bino byonna bibeere mu lipooti gye yasabye okukolebwa.