Amawulire

Hajjat Kabanda akuutidde Bannakira okwongera omutindo ku bye bakola gavumenti ebakwasizeeko

Omubaka wa Kampala Central mu Palamenti, Hajjat Minsa Kabanda adduddewo mu butongole omwoleso gwa Kira Municipal Council Annual Trade Expo ku kisaawe e Kira n'asaba aboolesi okufaayo okufuna akabonero ka UNBS akakakasa omutindo gw'ebintu bye bakola kibayambeko okusobola okugaziya akatale ne wabweru w'eggwanga.

Hajjat Kabanda akuutidde Bannakira okwongera omutindo ku bye bakola gavumenti ebakwasizeeko
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Omubaka wa Kampala Central mu Palamenti, Hajjat Minsa Kabanda adduddewo mu butongole omwoleso gwa Kira Municipal Council Annual Trade Expo ku kisaawe e Kira n'asaba aboolesi okufaayo okufuna akabonero ka UNBS akakakasa omutindo gw'ebintu bye bakola kibayambeko okusobola okugaziya akatale ne wabweru w'eggwanga.

Kabanda, abadde Minisita wa Kampala mu kabineeti ya President Museveni eyavuddeko yategezeza nti bwe yabadde alambula emidaala egisinga alabye ng'abasinga tebalina kabonero kano kyokka nga kamakulu nnyo nasaba town Clark n'olukiiko lwa Kira okuyamba ku bantu bano okufuna akabonero ka UNBS ng'akuutidde abo abakola ebintu ebyenjawulo okulaba nga bakulembeza ekyokwongerako omutindo nga kyakubayamba nnyo okukula bagejje ng'abamakolero amanene bebegomba kuba nabo batandika batono.

Hajjati Minsa Ngalambula Emidaala E Kira

Hajjati Minsa Ngalambula Emidaala E Kira

Hajjati Minsa Ngalambula Emidaala. Ku Ddyo ye Benon Yiga, Town Clerk wa Kira Munisipaali

Hajjati Minsa Ngalambula Emidaala. Ku Ddyo ye Benon Yiga, Town Clerk wa Kira Munisipaali

Asabye ne gavumenti endala ez'ebitundu okulabira ku Kira by'ekola ebigifudde nnaggwano n'ategeeza ng'omwooleso guno bwe guyamba ennyo abantu abalina bye bakola naye nga tebamanyiddwa kyokka we bakungaana awamu ne bafuna okumanyikibwa wamu n'akatale gattako okuwang'ana ku magezi eri abo ababasingako n'asabye enkola eno egende mu maaso buli mwaka.

Hajjati Minda ayongeddeko nti gavumenti nneetegefu okukwasiza ku bantu abalina bye bakola okusobola okwongera omutindo ku bye bakola n'okukulaakulana kuba babeera batondawo emirimu eri abalala n'okugatta ettoffaali ku nkulaakulana y'eggwanga.

Hajjati Minsa Ngalambula Emidaala

Hajjati Minsa Ngalambula Emidaala

Hajjati Minsa Ngalambula Emidaala, Ku Ddyo Ye Tc Yiga Benon (2)

Hajjati Minsa Ngalambula Emidaala, Ku Ddyo Ye Tc Yiga Benon (2)

Ye omumyuka wa RDC wa Kira Division, Sharon Abu yeebaziza aba Kira olwokuleeta omwoleso guno ogugatta Bannakira awamu naabo abalina bye bakola. Abu era yeebazizza abantu wamu n'aboolesi abazze mubunji mu mwooleso guno nga gwegusoose kubanga tekitera kuba kyangu kutegeka kintu omulundi ogusoose nebakijumbira naye kyewunyisa okuba nga emidaala egyategekeddwa gyaweddewo n'abamu nebafika nga yebaziza town Clark ne bane olw'okukuumira Kira kuntiko.

Okuva Ku Kkono Tc Yiga, omumyuka wa RDC wa Kira, Sharon Abu Ne Hajati Kabanda Owokubiri Ku Ddyo Nga Bali Ku Mukolo Gw'omwoleso E Kira

Okuva Ku Kkono Tc Yiga, omumyuka wa RDC wa Kira, Sharon Abu Ne Hajati Kabanda Owokubiri Ku Ddyo Nga Bali Ku Mukolo Gw'omwoleso E Kira

Benon Yiga Town Clark wa munisipaali y'e Kira asabye gavumenti okufuula Kira ekibuga ekyenjawulo olw'ebyo bye bakola nga basobodde buli mwaka okubeera mu bifo ebisooka mu gavumenti z'ebitundu ezisinze okukola mu ggwanga kyokka nga n'ebifo eby'omuwendo ebiri mu Kira bigifuula eyenjawulo era n'asaba gavumenti okubongera amaanyi kubanga nga Kira tebagiswazizza (gavumenti).

Minista Kabanda Ngali Nabamu Ku Bakulembeze Be Kira (3)

Minista Kabanda Ngali Nabamu Ku Bakulembeze Be Kira (3)

Yiga ayongeddeko nti bataddewo emidaala 350 mu mwoleso kyokka gyonna gyaweddewo n'ategeeza nga kkanso bwe yategeesezza omwoleso guno gubengawo buli mwaka nga binji byakukyuka.

Omwoleso guno gubadde gukola emisana n'ekiro ng'abantu emisana bagula ebintu kyokka ekiro ne basanyusibwa abayimbi abenjawulo ne bannakatemba nga gwagguddwaawo omuyimbi Winnie Nwagi. 

Tags:
Hajjati Minsa Kabanda
Kira
Omwoleso
Benon Yiga