Owa NUP eyayima ku Tiktok n'avvoola pulezidenti museveni n'okusiga obukyayi mu bantu ayimbuddwa

Apr 04, 2025

OMUWAGIZI wa NUP agambibwa okwekwata akatambi n'akassa ku mukutu gwe ogwa TikTok ng'asiga obukyayi mu bantu n'okuvvoola omukulembeze w'eggwanga ayimbuddwa okuva mu kkomera gy’abadde okumala wiiki ssatu wakati mu bukwakkulizo.

By Peter Ssuuna
Journalist @New Vision

OMUWAGIZI wa NUP agambibwa okwekwata akatambi n'akassa ku mukutu gwe ogwa TikTok ng'asiga obukyayi mu bantu n'okuvvoola omukulembeze w'eggwanga ayimbuddwa okuva mu kkomera gy’abadde okumala wiiki ssatu wakati mu bukwakkulizo.

Juma Magairewo 32, amanyiddwa nga Juma wa Bobi nga munnakibiina kya NUP, akola ogwa Makanika e Nakulabye mu Lubaga y’aleeteddwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo n’aweebwa akakalu kaayo wabula Omulamuzi Adams Byarugaba n’amussaako obukwakkulizo.

Mmeeya Wa Lubaga Zachy Mberaze Ne Kkansala Wa Namirembe Bakuli Alex Kisawuzi Mu Kkooti.

Mmeeya Wa Lubaga Zachy Mberaze Ne Kkansala Wa Namirembe Bakuli Alex Kisawuzi Mu Kkooti.

Mu maaso ga Mmeeya wa Lubaga Zachy Mawula Mberaze nga naye muwagizi wa Nup, Juma alagiddwa okweyisa obulungi okuli okugenderera ebigambo n’obubaka bw’assa ku mikutu emigattabantu era aweereddwa amagezi okwewala enjawukana mu by’obufuzi ekiyinza okumuleetera emirerembe.

Ayimbuddwa ku kakalu ka mitwalo 50 ez’obobuliwo n’abamweyimiridde obukadde 5 ezitali za buliwo newankubadde wasoose kubaawo vvaawompitewo ng’omuwaabi wa Gavumenti Caroline Mpumwire awakanya okweyimirirwa kwe.

Yabadde agamba nti tasaanidde kudda mu bantu olw’okuba yasuubiza okutuusa obulabe ku babaka ba NRM n’asaba kkooti gutandike okuwulirwa ng’akyali mu kkomera.

 

Kigambibwa nti Juma yeekwata akatambi ng'akyokooza omukulembeze w'eggwanga n'okumuvuma ssaako ekibiina kya NRM ng'assaawo enjawukana mu by'obufuzi era mu katambi, yali alaga obusungu ng'awera okutta ababaka ba NRM buli wamu w’abasanga n'abakulembeze abalala bwe baawukanya endowooza.

Ono era yalaga nga bw’awadde omukulembeze w’eggwanga essaawa 48 okulaba ng’ayimbudde abantu be yayita abawagizi baabwe ng’ekitali ekyo waakukolawo akatiisa.

Ng’ayita mu munnamateeka we Haruna Nsibuka, yamusabidde okweyimirirwa era n’akuweebwa nga guddamu May 26, 2025.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});