Poliisi ekutte abantu 5 ku by'omuwala eyafiira mu bbaala e Kololo; Ebizuuse bikanga!

Apr 04, 2025

EBIPYA bizuuse ku nfa y’omuwala Martha Murari Ahumuza 23, eyafiira mu bbaala ya Mezo Noir Bar e Kololo mu Kampala gye yali agenze okucakalira.

By Musasi Bukedde
Journalist @New Vision
Abalabi 1

EBIPYA bizuuse ku nfa y’omuwala Martha Murari Ahumuza 23, eyafiira mu bbaala ya Mezo Noir Bar e Kololo mu Kampala gye yali agenze okucakalira.

Abaserikale abanoonyereza ku musango guno bakizudde ng’omugenzi yava mu maka ga bazadde be agasangibwa mu Mamerito ward mu diviizoni y'e Kira e Wakiso nga March 19, 2025 n’agenda okukola nga bulijjo ku HSF Logistics Company e Nakasero gye yali maneja avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi.

Barbara Murari Maama W'omugenzi, Wakati Nga Bateeka Ekimuli Ku Sanduuke.

Barbara Murari Maama W'omugenzi, Wakati Nga Bateeka Ekimuli Ku Sanduuke.

Mu kiseera ekyo maama we, Barbara Murali Kagonyera yali agenze Dubai okusuubula. Ahumuza bwe yamala okukola, olweggulo yagendako mu dduyiro n’okuwuga ku Speke Apartments gye yasisinkana mukwano gwe Dorreck Ampaire. 

Bwe baamala dduyiro beeyongerayo mu kifo ekirala ekisanyukirwamu ekya Auras Bar and Lodge e Kololo gye baabeera okutuusa ku ssaawa 6:05 ez’ekiro.

Oluvannyuma Ahumuza ne Ampaire baagenda mu Lower Kololo Terrace ewa Eria Mubiru eyali muganzi w’omugenzi gye baatuuka ku ssaawa 6:30 ez’ekiro nga March 20, 2025.

Sitetimenti Ampaire gye yakola ku poliisi yalaga nti ebiseera bye baamala ewa Mubiru abaagalana tebaayogerako bonna kuba buli omu obudde yabumala ali ku ssimu ye.

“Ahumuza yali ku ssimu ng’ayogeraganya ne Edward Mugabo, ng’ono naye yali muganzi we nga mu kiseera ekyo yali ku Mezo Noir gy’akola nga maneja”. Ampaire bwe yategeeza.

Ku ssaawa 7:00 ez’ekiro, Ahumuza yagamba Mubiru nga bwe yali agenda ewaabwe e Kira. Kyokka baasooka kwekatankira mwenge gwa bbeeyi ogwa Sauvignon Blanc Marggaret River naye Mubiru teyanywa.

 

Kyokka olwasimbula, Ahumuza n’ategeeza Ampaire basooke bagende basisinkane Mugabo ku bbaala ya Mezo Noir kuba baalinamu ensonga ze yali ayagala okugonjoola.

Kyazuuliddwa nga Ahumuza aliko obubaka bwe yaweereza Mugabo ku ssimu mu lungereza nga busoma nti; “I have no curfew today.” Abanoonyereza kye bavvuunula nti yali ategeeza nti maama we yali taliiwo ku lunaku olwo.

Mugabo eyali agenze okutwala mwannyina ewaka, yakomawo ku bbaala ku ssaawa 7:30 ez’ekiro. Ahumuza yatuuka ku ssaawa 7:45 era kkamera eziri mu kifo ziraga omukuumi Deus Niwamanya ng’aggulawo ggeeti.

Mu kiseera ekyo ebbaala baali basigaddemu babiri bokka kuba abadigize n’abakozi b’ekifo abalala baali bagenze nga baleseewo mukuumi yekka. Mugabo yasooka kugabula Ahumuza ‘shorts’ nnya (Obugiraasi bwa waragi omuka ng’oyiwayo kalamba lumu), nga gwe yamuwa yali wa kika kya Jagermeister liqueur n’ekyokunywa kya Red Bull. 

Kkamera ziraga nga Ahumuza aliko omwenge gw’ayiwa mu kifo we bateeka kasasiro, mu kiseera nga Mugabo yeewunguddemu.

Ababiri balabibwa nga beesogga ofiisi ya maneja ku ssaawa 8:29 ez’ekiro gye beegadanga mu nsonga z’omukwano.

Ku ssaawa 9:30, Mugabo yalabibwa ng’akuba amasimu ag’okumu kumu era waayitawo akaseera katono, muganda we Joseph Kalisa n’atuuka mu benzi enzirugavu eyaliko ennamba ya SSD 020BY.

Nga bayambibwako omukuumi w’ebbaala, abasatu baasitula Ahumuza ne bamuteeka mu mmotoka eyamutwala mu ddwaaliro lya Kampala Hospital.

Abasawo baakola buli ekisoboka okumuzza engulu ne bigaana era ne bategeeza nti afudde ku ssaawa 9:00 ez’emisana nga March 21, 2025.

Abantu 5 bakwatiddwa
Abantu 5 be baakakwatibwa okuli; Edward Mugabo, Joseph Kalisa, Eria Mubiru, Deus Niwamanya ne Dorreck Ampaire. Poliisi yazingako ebbaala ya Mezo Noir n’eggyayo obujulizi okuli n’eccupa z’omwenge omunyweko, giraasi, bedcover ne T-Shirt ebyajjibwa mu ofiisi ya maneja.

Omwenge omulala gwaggyibwa wa Mubiru e Kololo era byonna ne bitwalibwa mu Government Analytical Labaratory e Wandegeya gye biri mu kwekenneenyezebwa. Fayiro y’omusango ku nfa ya Ahumuza yaggulwawo ku poliisi ya Kira Road Police Station ng’eri CRB 308/2025.

Related Articles

No Comment