MMEEYA we Nakawa Paul Mugambe agumizza abatuuze be Kinawattaka e Mbuya abalinaanye omwala gwa Katoogo abaalagiddwa okusenguka nti bagenda kukola ekisoboka kyonna okulaba nga bazooka kuliyirirwa nga bwebaasuubizibwa.
Bino biddiridde Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja okuyisa ekiragiro bano basenguke baviire omwala oluvannyuma lw’enkuba eyatonnya gyebuvuddeko amataba negatta abantu basatu mu kitundu kino.
Meeya Mugambe ategezezza nga abantu abali mu kitundu kino bwebatalina buzibu bwonna na kusengukawo olw’entekateeka y’oluguudo lwa Kampala-Jinja Express way olugenda okuyita mu kitundu kino kyokka nga blina kusooka kuliyirirwa nga bwebaali baasuubizibwa ekitongole kya UNRA bwekyali kikyetongodde nga kyamala n’okubabalirira.
Kyokka Mugambe alaze obwennyamivu nti ekizibu ekisinga si bantu abasenga okumpi n’omwala guno wabula ekizibu ekinene kiva ku bantu abaayiwa ettaka mu lutobazi lwe Banda oluli ku bugazi bwa yiika ezisoba mu 50 nga luno lwelwali lukwata amazzi gano gonna.
Ayongeddeko nti kati buli amazzi lwegajja mu kifo ky’okulegama mu lutobazi luno, gayitawo buyisi olwo negaggwera mu bantu olwo abantu nebalabika nga abagalumbaganye ekintu ekitali kituufu.
Mugambe ategezezza nga enfunda eziwera bw’azze ayogeraganya n’abekitongole ky’obutonde bw’ensi ekya NEMA ku nsonga y’entobazi eziyibwamu ettaka kubanga kino kyekizibu ekinene ekikyasinze.
Asabye NEMA eveeyo ewalirize abagagga abayiwa ettaka mu ntobazi okuzamuka kubanga bwebataakikole obulamu bw’abantu bujja kusigala mu katyabaga.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Derrick Ssekanjako bategezezza nga eky’okubamenya bwekitajja kuyamba nga ekisanye okukolebwa ye gavumenti okukwata abo bonna abalina ettaka mu ntobazi.
Ssekanjako ategezezza nga bwebatalina buzibu nak uva mu kifo kino wabula nga kirina kubeerawo nga bamaze kuliyirirwa nga bwebaali baasuubizibwa.