Bbeebi gwe babadde batwala ku DNA awanuse ku kalina n'afa
Apr 07, 2025
ABAFUMBO abali mu kkooti ku nsonga z’okwawukana nga birimu n’okutankana obuzaale bw’abaana, bbebi waabwe ow’emyaka ebiri avudde ku kalina ng’agwa n’afa.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAFUMBO abali mu kkooti ku nsonga z’okwawukana nga birimu n’okutankana obuzaale bw’abaana, bbebi waabwe ow’emyaka ebiri avudde ku kalina ng’agwa n’afa.
Poliisi ekutte omukazi n’emuggalira. Abafumbo bano ye Chris Rugari ne Joline Mutesi Dusabe 40, era batuuze mu Mutungo zzooni 8, mu munisipaali y’e Nakawa mu Kampala.
Rugari musuubuzi ow'amaanyi alina bizinensi mu Uganda n'ebweru w'eggwanga era nga ye mubaka wa Uganda mu Zimbabwe. Kigambibwa nti Dusabe ne Rugari babadde n’obutakkaanya ku buzaale bw’abaana baabwe, ekyaleetera Rugari okugenda mu kkooti ng’asaba baawukane.
Dusabe Nnyina W'omugenzi.
Wabula kkooti yabalagira okukebeza abaana bano endagabutonde (DNA) okusobola okukakasa obuzaale bwabwe nga tennaba kusalawo ku kya kubaawukanya. Babadde bakyalinda okutwala abaana bano ku DNA nga kkooti bwe yalagira, ate asembayo obuto Nganwa Rugari, kwe kufa mu ngeri Rugari n’aba ffamire ye gye batankana.
Wano poliisi we yasinzidde okukwata Dusabe ne yaaya w’awaka bagiyambeko mu kunoonyereza. Okusinziira ku mugagga Rugari, ku baana abasatu be yasooka okukebeza DNA, ebyavaayo byalaga nti omwana omu yekka ye yali owuwe, ng’ababiri si babe.
Agamba nti wano we yava n’assaayo okusaba kwe mu kkooti ng’ayagala baawukane ne mukyala we kyokka kkooti n’esaba kino nga tekinnakolebwa, abaana bonna abataano basooke bakeberwe omulundi gumu, balabe ebinaavaamu.
Dusabe yatwaliddwa ku poliisi y’oku Jinja Road mu Kampala n’aggyibwako sitetimenti era okunoonyereza ku musango guno kukyagenda mu maaso.
Rugari, Taata W'omwana.
OMWANA AFA ATYA?
Okunoonyereza kulaga nti bbebi ayogerwako yafa ku Lwakusatu lwa wiiki ewedde nga April 2, 2025, oluvannyuma lw’okufuna ebisago nga kyaddirira okuwanuka waggulu ku mwaliriro ogwokubiri, ogw’ennyumba eya kalina mwe basula n’agwa nga April 1, 2025 ku ssaawa 8:00 ez’omu ttuntu.
Dusabe, agamba nti oluvannyuma lw’omwana okugwa, yakozesa obwangu n’amuddusa mu ddwaaliro e Kitintale abasawo ne bamujjanjaba era bwe zaawera essaawa mukaaga ogw’ekiro, neb abasiibula ng’akubye ku matu wabula ne bamugamba okumuzzaayo enkeera bamukube ekifaananyi ku mutwe, balabe n’embeera gye gulimu.
Agamba nti eby’embi, bwe yagolokola ku makya, yasanga bbebi embeera yeeyongedde okuba embi nga n’omukka abaka mubake.
Amangu ago yakubira Ambyulensi y’eddwaaliro lya Kitintale, bbebi ne bamuzzaayo naye baali baakatuuka, abasawo baagenda okumukwatako nga yafudde dda.
Dusabe, agamba nti amangu ago yakubira aba ffamire wamu n’abeemikwano n’ababikira, n’abasaba n’okukola ku nteekateeka z’okutwala omulambo guziikibwe. Lwa ki ffamire etankana enfa y’omwana?
Kigambibwa nti abaffamire ya Rugari beekengedde engeri Dusabe, gye yabadde ayogeramu bwe batyo ne bayita poliisi ekole okunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko omwana okufa.
Bbebi Nganwa Eyafudde.
Okunoonyereza kulaga nti bbebi ono w’afiiridde nga kkooti yaakayisa ekiragiro okukebeza abaana bonna abataano endagabutonde, okuzuula oba ba Rugari.
Aba ffamire ya Rugari, bagamba nti kyabakubye wala okuwulira nti omu ku baana yafudde mu ngeri etategeerekeka ate mu kiseera mwe baabadde beetegekera okubatwala ku musaayi bakeberebwe nga kkooti bwe yalagira.
Bano era baagala okumanya lwaki abaana ababiri, abaasooka okukeberebwa ne kizuulwa nga si ba Rugari, ate nnyaabwe yali yabaggya awaka nga ne gye babadde babeera, tewamanyiddwa.
Kigambibwa nti abasawo beekebezze omulambo gw’omwana ne batamuzuulako wadde enkwagulo oba okuzimba okw’engeri yonna ekitegeeza nti eby’okugamba nti omwana yawanuse ku kkalina n’agwa kyabadde kya bulimba.
Okusinziira ku lipooti y’abasawo, ffamire egamba nti okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, tewali ggumba lyonna lyamenyese, ekyongedde ebibuuzo okweyongera ku kyasse omwana Nganwa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yakakasizza okukwatibwa kwa Dusabe oluvannyuma lw’abasawo ku ggwanika e Mulago okukizuula nti ku mulambo gw’omwana, tekwabaddeko kiraga nti yabadde agudde.
Oluvannyuma lw’okukwata Dusabe, poliisi yamuggyeeko siteetimenti n’akalambira nti omwana yagwa okuva waggulu ku kalina era nga kye kyamuviiriddeko okufa. Abaserikale okuva ku poliisi ya Jinja Road, baatutte Dusabe, mu maka ge e Mutungo abalage engeri omwana gye yagwamu kyokka ng’ebisinga ku by’annyonnyola biri matankane.
Okugeza, ekifo w’agamba nti omwana we yagwa waaliwo peeva kyokka omwana n’atafuna buvune bwonna wadde okuvaamu omusaayi.
Okunoonyereza okwakoleddwa kulaga nti bino bigenze okubaawo nga Rugari, y’abeera
n’omwama omukulu, ate abalala Dusabe y’abeera nabo.
Bambega ba poliisi era baakutte yaaya w’awaka abayambeko mu kunoonyereza okugenda mu maaso.
Wabula, kigambibwa nti mu kukebera omulambo gw’omwana, abasawo baakizudde nti olubuto lwe lwabadde lukalu, ekitegeeza nti yandiba nga yammibwa emmere bw’atyo n’afa enjala.
No Comment