OMUKAZI eyaganza abasajja ababiri n’azaala abaana asobeddwa bombi bwe bamuziriridde abaana.
Abawazeewaze n’abatwala mu ofiisi ekola ku nsonga z’amaka, abaana n’eddembe ly’obuntu e Kayunga ekulirwa Collins Kafeero, ayambibwe waakiri omu ku bo akkirize obuvunaanyizibwa kubanga omwana omukulu mulwadde, ate nga gy’atambudde yonna bamugamba nti omwana abanja kika kye ekituufu.
Sauda Naabakaabya 23, agamba nti y'abeera n’abasajja bombi era beemanyi okuli Peter Tusuubira omutuuze w’e Kisaaba ne Henry Lutaaya ow’e Namagabi “A” mu Kayunga town council mu disitulikiti y’e Kayunga wabula olubuto ne lumubuzaabuza nnyini lwo omutuufu.
Nti bwe yafuna olubuto olwasooka yaluwa Tusuubira wabula n’alwegaana kwe kuluwa Lutaaya ono n’alukkiriza. Kalumanywera ali ku mwana omukulu ow’emyaka omukaaga Naabakaabya gw’agamba nti newankubadde yamugabira Lutaaya wabula ateebereza nti wa Tusuubira.
Mu kiseera kino Naabakaabya ali mu maka ga Lutaaya Brian e Namagabi era nga yazaala n’omwana owookubiri wabula nga ebbanga lyonna abadde alabagana ne Tusuubira kyokka Tusuubira yeecanga. Tusuubira ayagala babakebere DNA ye omwana ne Lutaaya okuzuula ekituufu.
Wabula Naabakaabya yakakasizza nti Tusuubira ye yamuwa olubuto wabula ne yeekwasa eby’okumutabangulira amaka kwe kuweta n’adda ewa Lutaaya kyokka n’azibira ekyama okutuusa kati ng’omwana ayagala kika kye.
Lutaaya agamba nti musajja munne Tusuubira amulangira obwavu sso nga amulabiriridde omwana okuviira ddala nga nnyina ali lubuto.
Tusuubira obwedda asoma ssaala za kwejjusa nti okuva bino lwe bizuuse tamanyi waakudda mukyala we ali mu maka ali olubuto mu kiseera kino ate nga alina n’obulwadde bw’entunnunsi.
Kafeero yasazeewo bakebeze abaana n’abasajja bombi endaga butonde okuzuula taata omutuufu.