Ekizimbe kya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II kigguddwawo wakati mukwetegekera amazaalibwa ga Kabaka

Apr 07, 2025

EKIZIMBE ekyabuddwamu Kabaka Muwenda Mutebi II kigguddwawo Nnaalinya Victoria Nkinzi ng’akabonero akakulu ak’ebijaguzo by’emyaka 70 gyagenda okukoona nga April 13,2025. 

NewVision Reporter
@NewVision

EKIZIMBE ekyabuddwamu Kabaka Muwenda Mutebi II kigguddwawo Nnaalinya Victoria Nkinzi ng’akabonero akakulu ak’ebijaguzo by’emyaka 70 gyagenda okukoona nga April 13,2025.

Kino kyatereddwa ku St.Peter’s SS e Bombo-Kalule e Luweero mu ssaza ly’e Bulemeezi ng’omukolo gw’okukiggulawo gwabaddewo ku lwa April 4,2025.

Nkinzi yatuusizza obubaka bwa Kabaka bweyategereza nti ensonga lwaki Obwakabaka buteeka essira kubanga bikulu nnyo mu nkulakulana y’ensi n’abantu baayo era n’alagira abantu be okubiteekako essira.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera

Katikkiro Mayiga ng'ayogera

“ Ebyenjigiriza ky’ekimu ku mpagi enkulu okwesigamwaako enkulakulana y’ensi n’abantu bayo. Eno y’ensonga lwaki bubisaako nnyo essira,” Kabaka bweyagambye.

Kabaka yalagidde abantu e Bulemeezi n’Obwakabaka okutwlaira awamu okutwala eby’ebyenjigiriza ng’ekikulu kubanga omwana asomye afuna emikisa mingi okusinga atasomye.

“Okuwereera abaana buvunanyizibwa bwa buli muzadde. Omuntu asomye afuna emikisa mingi okusinga atasomye. Awo nno abayizi tubasaba musse nnyo omwoyo ku misomo gyammwe.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yasinzidde wano n’ategeeza nti Kabaka okukulembeza eby’enjigiriza atambulira mu buufu bwa Bajjajjabe okuviira ddala ku Ssekabaka Muteesa I eyayita abazungu kuno okuleeta eby’enjigiriza ebiriwo.

Omumbejja Nkinzi ng'asoma obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka

Omumbejja Nkinzi ng'asoma obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka

Omwami w’essaza ly’e Bulemeezi era nnanyinni ssomero lino awatereddwa ekijjukizo kino,Ronald Mulondo yategezezza nga bwebenyumiriza ennyo mu bukulembeze bwa Kabaka kubanga mu kubaterawo ebibegabega bye bayimirireko,ekifo kino kisobodde okukulakulana okuva ku yiika emu okutuuka ku yiika 15.

Mu kifo kino kyasimbiddwamu emiti 70 era okujjaguza emyaka 70 egya Kabaka era nekifuna erinnya epaatiike ‘Green city’.

Ku Lwomukaaga,April 5,2025,ku mbuga z’amasaza n’eggombolola zonna mu Buganda kwaliko ebyooto ebyakozesebwa okwogera ku ngeri abantu gyebayinza okwewalamu endwadde okuli mukenenya.

Ekizimbe kya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi nga bwekifaanana

Ekizimbe kya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi nga bwekifaanana

Leero (Lwakubiri April 8,2025),Obwakabaka bugenda kuggulawo eddwaliro e Busimbi mu kibuga Mityana e Ssingo era ng’ekimu ku bijjaguzo by’amazaalibwa ga Kabaka ng’entikko yaabyo yakubeerawo ku lwa ssande eno ku Lutikko e Lubaga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});