Endwadde omulimi n’omulunzi ze weerinda mu nkuba
Apr 07, 2025
WADDE ng’ekiseera ky’enkubakisanyusa abalimi n’abalunzi mu Uganda olw’ebirime okweyagala n’omuddo okukula okuliisa ebisolo, wabula n’ebirwadde byegiriisa mu budde buno. Leero tukuleetedde ebirwadde ebirumba ebirime n’ebisolo mu kiseera kino n’engeri gy’oyinza okubyewala osigale mu bizinensi.

NewVision Reporter
@NewVision
WADDE ng’ekiseera ky’enkubakisanyusa abalimi n’abalunzi mu Uganda olw’ebirime okweyagala n’omuddo okukula okuliisa ebisolo, wabula n’ebirwadde byegiriisa mu budde buno. Leero tukuleetedde ebirwadde ebirumba ebirime n’ebisolo mu kiseera kino n’engeri gy’oyinza okubyewala osigale mu bizinensi.
EBIJANJAALO
George William Kiwanuka, anoonyereza ku bijanjaalo mu kitongole kya NARO-Namulonge, agamba nti, amazzi agasusse gavunza ebijanjaalo okutandikira ku mirandira n’eminyololo nga bissizza naddala singa byasakaatira. Wano akuwa amagezi okusooka okukakasa nti, ekitundu mw’ogenda okusimba tekiregamamu mazzi okutangira okuvunda emirandira. Okuvunda kw’eminyololo, oyinza okukwetangira ng’osimba mu layini okulaba ng’ebijanjaalo byo bibeera n’amabanga agamala okuyisa empewo
n’akasana.
Mu ngeri y’emu simba ebika eby’enjawulo okuli; ebikula amangu ate n’ebitwala ku bbanga eggwanvuko nga kino kikuyambaobutafiirizibwa singa ebimu bikula
ng’enkuba nnyingi eby’ebbanga eggwanvu bikuwa ssente.
KASOOLI
Dr. Charles Lwanga Kasozi, omunoonyereza ku kasooli, agamba nti, kasooli atawaanyizibwa amazzi agasusse agamukonya n’okukola kyenvu. Weewale okusimba mu kifo ekiregamamu amazzi. Era kakasa ng’okungulira mu budde kuba kasooli afa singa enkuba emusanga ku musiri ng’akaze. Kino kimuleeta okukukula n’ofiirizibwa.
EBITOOKE
Ssaalongo Washington Mugerwa, omukugu mu kulima ebitooke agamba nti, ekiseera ky’enkuba ebitooke bitawaanyizibwa nnyo ebiwuka okutandikira ku kaasa okutuuka ku busirihhanyi obulya emirandira.
Akuwa amagezi okukakasa ng’ekitooke kyo tekiriiko bisaaniiko ebikweka kaasa, okuliisa obulungi olusuku okuwa amaanyi ebitooke okulwanyisa ebirwadde n’eddagala eritta ebiwuka.
ENNYAANYA
Joseph Male, omuwanguzi w’empaka z’Omulimi Asinga 2019, nga mukugu mu kulima enva endiirwa, agamba nti, ennyaanya zirumbibwa ebirwadde bingi mu biseera by’enkuba, okuli; bulayiti, ebirwadde by’ebikoola, ebibala okuvunda n’ebirala. Wano fuba okulaba ng’ennyaanya tezituula ku ttaka ng’obikka oba okukozesa ebika ebitambuzibwa ku buti. Kakasa ng’oliisa ennyaanya zo okuziwa amaanyi okulwanyisa obulwadde, kuuma ebikoola nga bikalu n’okufuuyira.
MUWOGO
Dr. Iren Bayiyana, owa NARO agamba nti, muwogo atawaanyizibwa mazzi agalegama. Omulimi ayagala okufuna ssente mu muwogo, kakasa nti, ekifo w’omusimba tekiregamamu mazzi kuba kimugaana okukula ate omukulu n’avundira mu ttaka. KKOOKO
Joseph Mulindwa, omunoonyereza ne NaCORI agamba nti, mu kiseera ky’enkuba kkooko alumbibwa ebirwadde ebitambuzibwa obuwuka bw’empumbu naddala ebivunza ebibala.
Buno osobola okubwewala laba ng’osalira bulungi ssamba yo eya kkooko okugissaamu ekitangaala ekimala, okufuna akasana ate n’okuyisa empewo.m
OKULABIRIRA ENKOKO
Christopher Magezi owa Champrisa International, agamba nti, waliwo ebirwadde bingi ebirumba enkoko mu kiseera ky’enkuba omulunzi by’alina okwegendereza aleme kufiirwa. Bino kuliko:
l Ebibwa nga bino bitambuzibwa ensiri singa ebeera erumye ku nkoko endwadde n’eruma ku ndala, ate nga mu nkuba zibeera nyingi.
l Ekiddukano nakyo kitawaanya enkoko singa ennyumba yo ebeera etonnya. Obukuta buli lwe butoba, buwa obuwuka bwa bakitiriya embeera ennungi okukula. Buno okubwewala gema enkoko zo, zijjanjabe sinag ziddukana n’okusinga kuuma obuyonjo. l Omusaayi mu kalimbwe (Coccidiosis): Kino nakyo kiba kiddukano, nga kireetebwa obucaafu mu nnyumba naddala ng’etonnya. Obuwuka buno bukosa ebyenda ne bubikubako obubwa ekiddukanya enkoko omusaayi. Buno bulwanyise na kukuuma buyonjo, na kukuuma kyumba nga kikalu obudde bwonna. Amazzi g’enkoko galina kubeera mayonjo, tozipakira mu nnyumba, zigeme enkoko obulwadde buno
ku nnaku 12 ez’obulamu bwazo Dr. James Muwanga, omusawo w’ensolo era omulunzi w’embuzi, agamba nti, ekiseera ky’enkuba abalunzi b’embuzi balina kubeera mu keetalo n’okulwanyisa ebirwadde okutandikira ku ziri amawako okukakasa nti, tezizaalira ku ttale kuba singa enkuba egisanga eyinza okutta omwana.
Ekiseera ky’enkuba, ebiwuka bibeera bingi ku muddo nga wano weetaaga okuwa embuzi zo eddagala eritta ebiwuka ate n’okuzifuuyiza okutta enkwa. Embuzi zivunda
n’ebigere.
Mu kiseera ky’enkuba, weewale okugula embuzi z’okutandika okulunda kuba ebirwadde bibeera bingi.
OBUVUBI
Eri abalunzi b’ebyennyanja, mukoka
amanyi okujjuza ebidiba
ekivaako ebyennyanja okufa
n’okukuluggusibwa amazzi. Fuba
okwerula ebifo ebiriraanye ebidiba
byo, okwetegekera ekyeya ekiyinza
okuddirira oluvannyuma
lw’enkuba n’okulongoosa amaato
n’ebikozesebwa mu buvubi
No Comment