Poliisi etandise okuzimbira abaserikale amayumba

Apr 08, 2025

POLIISI etandise kaweefube w’okulongoosa embeera abaserikale baayo mwe basulabw’etongozza okuzimba ebizimbe eby’omulembe mu nkambi yaayo e Naggulu.

NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI etandise kaweefube w’okulongoosa embeera abaserikale baayo mwe basula
bw’etongozza okuzimba ebizimbe eby’omulembe mu nkambi yaayo e Naggulu.
Bakikoze basobole okuwona obuyumba obubi obwakazibwako erya “maama yingiya
pole”. Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba yagambye nti abaserikale balina okusula obulungi nga kye kyamuviirako okuyita olukiiko olw’oku ntikko n’ayanja ensonga y’okuzimbira abaserikale bawone okusula obubi.
“Twakiraba nti abaserikale balina okusula obulungi era kwe twava tufuna ekirowoozo ky’okutandika okubazimbira ng’enteekateeka eno etandikidde mu Kampala n’emiriraano kuba nagendako mu nkambi e Naggulu naye bye nalabayo, byandagira ddala nti basula bubi kwe kuyita abakulira ebitongole mu poliisi ne mbategeeza ensonga ne bagikkiriza era kati tutandise” Byakagaba bwe yategeezezza.
Yagambye nti ku mutenderaogusooka, baakuzimba ebizimbe bya kalina 20 nga buli kizimbe kisulako abaserikake 60 n’ab’omu maka gaabwe nga baatandikidde Naggulu. Ebizimbe bino byakuyambako okumalawo ekizibu y’okusula obubi mu baserikale.
Mu nsisinkano gye yalimu ne Pulezidenti Museveni nga yaakamulonda ku buduumuzi
wa poliisi, Byakagaba agamba nti Pulezidenti yamufalasira okutumbula embeera abaserikale gye babeeramu naddala ensula yaabwe.
Kyategeezeddwa nti baatukiridde ekitongole ekivunaanyizibwa  okugulira Gavumenti ebikozesebwa ekya PPDA ne kikkiriza poliisi okwegulira era nga waliwo n’enteekateeka z’okukula ekyuma ekikuba bbulooka.
Akulira ekitongole kya poliisi ekizimbi, AIGP James Apora yagambye nti ebizimbe bye
bagenda okuzimba, byakubaako ebisenge 1200 okwongereza ku byasooka nga kati bubisulamu nga kati bali ku mutendera gwakusatu.
Minisita Mayanja annyonnyodde ku by’ettaka ly’e Gunda Yagambye nti era e teekateeka z’okuzimba zaakweyongerayo mu nkambi za poliisi okuli Kireka, Nsambya ne ku k tongole kya poliisi ekizikiriza omuliro ng’omulimu guno gwakumala omwaka gumu. Ssentebe w’ekitundu okuli enkambi ya poliisi e Naggulu, Jennifer Achola Odong yagambye nti enkulaakulana ekoleddwa poliisi ekyusizza bingi kuba bazimbye
bbugwe okugyetooloolan ekikendeezezza ku bumenyi bw’amateeka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});