Olukiiko olufuzi olwa UTOF lugobye mmemba waalyo

Apr 08, 2025

ABAKULEMBERA omulimu gwa takisi wansi w’ekibiina kya UTOF batudde bukubirire ne bagoba mmemba waabwe  Sadat Ssemwanje Kalyango atula ku lukiiko olufuzi nga bamulaga okwagala okutabangula omulimu gwabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKULEMBERA omulimu gwa takisi wansi w’ekibiina kya UTOF batudde bukubirire ne bagoba mmemba waabwe  Sadat Ssemwanje Kalyango atula ku lukiiko olufuzi nga bamulaga okwagala okutabangula omulimu gwabwe.

            Olukiiko luno olubaddemu ba ddereeva ne bakondakita  abasoba mu 1000, nga bonna baswakidde lwakubiriziddwa ssentebe waabwe Rashid Ssekindi ng’ayambibwako omumyuka we Musitafah Mayambala , William Katumba, Charles Ntale ne Magid Nsiiko bonna bakanyiza kimu nti  Sadat Ssemwanje Kalyango  abadde akulira abavubuka ku lukiiko olufuzi ayimiriziddwa n'alagirwa okweyanjula mu kakiiko k’e mpisa akatewala ekibiina kya UTOF.

“Kino ekikolwa Ssemwanje kyeyakoze okuyita olukung'aana lw’a bannamawulire nayisa mu ssentebe waffe amaaso ne kibiina kyonna okutwaliza kibeera kimenya mateeka era ayimiriziddwa bunnambiro ku kifo ky’abadde avunaanyizibwako” Musitah Mayambala omumyuka wa ssentebe wa UTOF asooka bweyategezezza.

Ayongeddeko nti ebigambo bya Ssemwanje bye yayogedde bibye ng’omuntu so si bya kibiina kya UTADA mwava kubanga ffe tetuyinza kukkiriza muntu yenna ayagala kuddamu kutabangula takisi n’okuwubisa bannayuganda.

Kibeera kya bulalu okugamba nti UTOF terina kyekoze kubanga UTOF okuva lweyajja mu buyinza ne twegatta nga ba ddereeva okuva mu bibiina ebyenjawulo buli kimu kibadde kitambula bulungi nga ne offiisi za gavumenti zonna zituwa ekitiibwa ekitaliwo emabega.

Ssentebe wa takisi mu ggwanga Ssekindi ategeezezza aba takisi nti wiiki ewedde Ssemwanje yajja mu lukiiko lwabwe lw’oku ntiiko naleeta ekirowoozo nti banzijjemu obwesige [Ssekindi] wabula ba mmemba ne bagaana.

           

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});