Amawulire

Fik Gaza ayimbiddwa ku kakalu ka kkooti

OMUYIMBI Shafik Jjingo amanyiddwa nga Fik Gaza avunaaniddwa lwakunyaga obukadde 10.

Fik Gaza ng'ali mu kaguli ka kooti
By: Margret Zalwango, Journalists @New Vision
OMUYIMBI Shafik Jjingo amanyiddwa nga Fik Gaza avunaaniddwa lwakunyaga obukadde 10.
 
Fik Gaza yakwatibwa ku Lwokuna mu bikwekweto bya poliisi bweyali eyigga abamenyi bamateeka bwebamuyoolera era abadde akuumirwa Ku poliisi e Katwe gyeyagyiddwa n'asimbibwa mu kkooti yeddaala erisooka e Makindye.
 
Empaaba ya kkooti emusomeddwa omulamuzi Patience Lorna Tukundane egamba nti Fik Gaza ne kanyama we Abduratif Ssemanda amanyiddwa nga Jonah baanyaga obukadde 10 oluvannyuma ne batuusa obuvune obwamanyi ku gwebaali babbye.
 
Fika Gaza 27,omutuuze we Luwafu mu munisipaali ye Makindye ngali ne Ssemanda ku ssomero lya New Life School Luwafu baanyaga Julius Othieno kyokka mukumubba oba oluvanyuma lwokumubba baakola effujjo nebamukuba era naafuna obuvune obwamanyi. Omusango baaguzza nga February 24,2025.
Fik Gaza nga bamuggyako empingu

Fik Gaza nga bamuggyako empingu

 
Fik Gaza omusango qgwegaanye era omuwaabi wa gavumenti Henry Twinomujuni n'ategeeza kkooti nti okunonyereza kuwedde era beetegefu okutandika okuwulira obujulizi.maaso n'asaba abawawabirwa Fik Gaza asindikibwe mu kkomera.
 
Fik Gaza ngawolerezebwa munnamateeka Nuhaimu Masereka asabye kkooti emukkirize ayimbulwe ku kakalu kyokka omulamuzi n'ategeeza nti Alina amaka agenkalakkalira e Nakinyuguzi, Alina n'amweyimrira abasaanidde Okwabadde nemuganda we Adam Kalule nomuyimbi Wampamba Charles Jjuuko nabalala.
 
Kyokka omuwaabi wa gavumenti awakanyizza okusaba kwe nagamba nti Ono Alina fayiro endala ezikyanonyerezebwako nga ssinga ayimbulwa ajja kijja kubeera kizibu okuddamu okufuna wabula kkooti bweba esiimye okumuta assibweko akakalu nobukwakkulizo obukakali era alekeyo paasipooti ye kkooti. Bino munnamateeka we abiwakanyizza nti bwewabaawo amwetaaga ajja kumunonya era ekyo tekirina kugaana kkooti kumuyimbula.
 
Kigambibwa nti ebizibu bya Fik Gaza tebinaggwa kubanga poliisi yamuguddeko omusango omulala ogwokukuba omuntu ne bamuwogola oluba.
 
Fik Gaza ng'atuuka ku kkooti

Fik Gaza ng'atuuka ku kkooti

AYIMBUDDWA,BAMUKUTTE YAKAFULUMA KKOOTO
Wadde omulamuzi akkirizza Fik okuyimbulwa ku kakalu,badde yakafuluma court naddamu okikwatibwa.
 
Wabula omulamuzi Tukundane ategeezezza nti okweyimirirwa ddembe lwa muntu ng'ate omuwawabirwa asobola okudda buli lwaba yeetagibwa.
 
Bwatyo omulamuzi amulagidde asasule akakalu Ka kakadde ezobuliwo ate abamweyimiridde obukadde 50 ezitali zabuliwo n'amulagira okuwaayo passipoti ye mu kkooti ngera buli lwanaaba ayagala okugenda every we ggwanga aginone mu kkooti.