KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II agguddewo eddwaliro e Busimb- Mityana mu ssaza ly’e Ssingo n’agamba nti agenda kufuba okulaba ng’obujjanjabi bwebafuniramu nga buli ku mutindo..
Mutebi II asabye abantu be okwetanira ennyo enteekateeka z’Ebyobulamu zonna nga bayita mu kwegemesa,okwekebeza n’okwejjanjabisa endwadde zonna.
Nnaalinya Sarah Kagere gwaatisse obubaka buno n’obuvunanyizibwa bw’okuggulawo eddwaliro lino eryatuumiddwa Kabaka Muteesa II ku lwokubiri April 8, 2025 n’asaba abantu mu kitundu kino okwemanyiiza okukozesa abasawo abatendeke buli lwebanoonya obujjanjabi.
“Obulamu bwammwe kikulu nnyo eri mmwe, n'eri obwakabaka kyetwava tusalawo okubasembereza eby'obulamu wano e Busimbi;
Ayongeddeko nti “Tujja kufuba okulaba ng'obuweereza mu by'obujjanjabi bwe munaafunira mu kizimbe ky'Eddwaliro Muteesa II ddala buba bwa mutindo,” Kagere bwasomye obubaka bwa Kabaka.
Ku lulwe Nnalinya Sarah Kagere asabye abasawo abagenda okukolera muno okwolesa empisa ennungi nga beewala emizze okuli okubba eddagala,okutuuka ekikereezi,okwebulankanya ku mulimu n’ebirala byeyayogeddeko ng’ebitajja kuweesa Bwakabaka kitiibwa.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategezezza nga Bakabaka ba Buganda bangi bwebazze bakulembeza ennyo eby’obulamu bw’abantu.
Kino ky’ekimu kyakolebwa Ssekabaka Muteesa II bweyakola ekinene mu kutumbula eby’obulamu by’abantu be mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu.
Mayiga agambye nti eno y’ensonga lwaki Kabineeti y’Obwakabaka yasaba Kabaka Mutebi II asiimye amalwaliro agali mu kuzimbibwa okuli lino ery’e Busimbi, Nyenga e Kyaggwe ne Mukungwe mu kibuga Masaka,gabuulwemu Ssekabaka Muteesa II,n’asiima kibeere kityo.
“Ssekabaka Muteesa II weyabeerera mu bukulembeze,Uganda yeyali ensinga eby'obulamu ebiri ku mutindo. Yawaayo ezimu ku nsimbi ze okuzimba eddwaliro e Karamoja. Ku mulembe gwe amalwaliro nga Gombe- Butambala gaazimbibwa,ettaka eryo lya Bwakabaka,” Mayiga bwayayogedde.
Mayiga yeebazizza abaami ba Kabaka n'abakulembeze ku mitendera gyonna e Ssingo olw'okukola ekisoboka okulaba ng'emisoso egyalina okugobererwa, nga gituukirira bulungi wadde waaliwo abaali baggotaanya enteekateeka eno.
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Minisita avunanyizibwa ku busizi bw’ensimbi, Robert Waggwa Nsibirwa yategezezza ng’Obwakabaka bwe bulina ekiruubirirwa ky’okutuusa ku bantu baabwo,eby’obulamu eby’omutindo naye nga biri ku nsimbi nsaamusaamu.
Ligenda kuddukanyizibwa mu nkolagana n’eddwaliro ly’e Mengo nga waasoose kuzimbwawo ekizimbe ky’abalwadde abava ebweru kyokka n’ebizimbe ebirala ebiwa obujjanjabi obw’enjawulo bigenda kuzimbibwa era kugenda kuzimbibwako n’ekizimbe ky’obusuubuzi.
Omukolo guno kitundu ku bijjaguzo by’emyaka 70 egy’amazaalibwa ga Kabaka ng’emikolo emikulu gyakubeerawo ku lw’amazaalibwa genyinni nga April 13,2025 ku lutikko e Lubaga mu Kampala era kwasimbiddwako emiti
Mu ngeri y’emu mu kifo kino,Obwakabaka kwebwatongoleza enteekateeka y’okugemesa abaana omusujja gw’ensiri ng’eno etambuzibwa ne minisitule y’ebyobulamu mu gavumenti eyawakati.
Dr. Richard Kabanda okuva mu minisitule y’ebyobulamu n’abakungu abalala beetabye ku mukolo guno. Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna,Bannabyabufuzi mu kitundu kino abaakulembeddwamu ababaka ba Palamenti okuli Francis Zaake Butebi ne Joyce Baagala baabaddewo