Eyaggyiddeyo bba ekiso mu katambi akaasaasaanye attottodde ; "Byaliwo mu 2021 era yali ava kunkuba"
Apr 09, 2025
Omukazi eyafulumide mu katambi nga aggyiddeyo bba ekiso azuuse n’attottola ekyavaako embeera eyo.

NewVision Reporter
@NewVision
Omukazi eyafulumide mu katambi nga aggyiddeyo bba ekiso azuuse n’attottola ekyavaako embeera eyo.
Mariam Nakasenge eyayogedde ne Bukedde ku Mmande, yasoose kutegeeza bw’akooye abamuyeeya bw’ali omubi ennyo okutuuka okuggyirayo eyali muganzi we ekiso kyokka nga tebamanyi butuufu bwa mboozi yasookawo ne bamusalira omusango.
Yabadde yeesibye akatambaala ku mutwe ng’ayambadde ekiteeteeyi ekiwanvu wabula nga munenemukko okusinga ku oyo alabikira mu katambi, nze kwe kumubuuza nti; Ye ggwe nnyabo alabikira mu katambi ng’okutte ekiso n’omwana mu mukono omulala ng’oyomba?
Yazzeemu nti, ye nze oluvannyuma n’annyonnyola ebyaliwo. Nnamala n’omwami oyo emyaka nga etaano okutuuka we twayawukana naye ebbanga kati ligenze, talabirira mwana wange.
Akatambi ako yakakwata 2021 bwe twali tulwana naye. Okulwana nasooka kumusaba ng'endeko ewaffe ku Ssekukkulu. Yang'aana ne mwegayirira n’alemerako. Yatandika okunkuba nange mu kwetaasa nanona ekiso nneerwaneko.
Bwe nakafuna namugamba nti taddamu kunkoonako era nti ekimala kimala. Nalina omwana wange nga mukutte kubanga yali akaaba. Nali sigenda kumutema nali ntiisatiisa asobole okulekeraawo okunkuba.”
Nakasenge agamba nti yali abeera Kyanja bino we byabeererawo ne bba gwe yaviira mu December wa 2021 ng’olutalo olwavaako okukwata akatambi ako luwedde.
Nakasenge agamba nti akatambi yakakwata dda kyokka n’akafulumya mu budde buno okumwonoona.
Agamba nti omusango yagutwala mu FIDA eyagutwala mu kkooti e Nabweru omwaka oguwedde kyokka omwami teyalabika mu kkooti. Yali awaaba gwa butalabirira mwana we ow’emyaka etaano.
No Comment