Bannakyewa baagala Palamenti eteeke emisolo gya bitjndu 100 ku 100 ku ssigala
Apr 10, 2025
BANNAKYEWA abalwanyisa okufuweeta sigala basabye palamenti okulaba nga bateeka emisolo gya bitundu 100 ku 100 ku sigala kiyambeko okukendeeza ku muwendo gw’abavubuka abamwetanira buli olukya.

NewVision Reporter
@NewVision
BANNAKYEWA abalwanyisa okufuweeta sigala basabye palamenti okulaba nga bateeka emisolo gya bitundu 100 ku 100 ku sigala kiyambeko okukendeeza ku muwendo gw’abavubuka abamwetanira buli olukya.
Gyebuvuddeko, minisitule y’eby’ensimbi yayanjulira akakiiko ka palamenti ak’ebyensimbi emisolo emipya omwali n’omusolo ku sigala n’ekigendererwa kyakukunganya obuwumbi 19 n’obukadde 40 era nga omusolo ogubadde gugibwako gubadde gwakulinya okuva ku nnusu 650 okudda ku nnusu 900.
Wabula mu nsisinkano ababaka ku kakiiko gyebabaddemu n’ebitongole ebimu okwongera okutunnulira emisolo gino, aba the Center of Tobacco Control in Africa bagambye nti okunonyereza kwabwe kulaga nga omuwendo gw’abavubuka abettanira sigala gwalinya okuva ku 3.8 ku 100 mu 2013 negutuuka ku bitundu 4.1 mu 2023 nga abalenzi bebasinga okumwetanira okuva ku bitundu 14.3 okutuuka ku 15 mu 2023.
Dr. Ezekiel Musasizi okuva mukitongole kino agambye nti n’omuwendo gwabetanira Shisha gwalinya okuva ku butundutundu 8 (0.8) okutuuka ku bitundu 2 ku 100 nasaba bateeke omusolo gwabitundu 100 ku 100 ku sigala owa wano n’ava ebweru kiyambeko okukendeeza abamwetanira.
Dr. Hafsa Lukwata okuva mu National focal point person for Tobacco Control Committee agmbye nti emisolo egiriwo egy’ebitundu 10 ku 100 mitono ddala nga bwebwongeza abavubuka abamwetanira bajja kumuvaako.
Wabula akubiriza akakiiko kano Dickson Kateshumbwa (Sheema Munisipaali) alabudde nti okulinyisa emisolo ekiyitiridde kiyinza okuviirako okukusa sigala okweyongera naddala singa amawanga agatuliranye go tegakiriziganya nakyakujongeza.
No Comment