Gavt. eyanjudde enteekateeka okuzimba ebisaawe by'ennyonyi ebipya

Apr 12, 2025

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku by'ennyonyi mu ggwanga ekya Civil Aviation Authority kikakasizza nga gavumenti bw'eteekateeka okuzimba ebisaawe by'ennyonyi ebipya n'okugula ennyonyi empya gattako okuggulawo engendo eziwerera ddala okwetoloola ensi.

NewVision Reporter
@NewVision

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku by'ennyonyi mu ggwanga ekya Civil Aviation Authority kikakasizza nga gavumenti bw'eteekateeka okuzimba ebisaawe by'ennyonyi ebipya n'okugula ennyonyi empya gattako okuggulawo engendo eziwerera ddala okwetoloola ensi.

Bino byayogeddwa omumyuka w'akulira ekitongole kino Olivie Birungi Lumonya ku mukolo ogw'okuttikira abayizi b'ettendekero lya Uganda Civil Aviation Academy nga bano baakuguse mu masomo g'eby'ennyonyi. Omukolo guno gwayindide ku Protea Hotel mu Kampala.

Lumonya yagambye nti enteekateeka gavumenti gy'ereeta eruubiriddwaamu okwongera enkulaakulana mu ggwanga era kyakuyambako nnyo n'abo abakuguse mu by'ennyonyi okufuna emirimu.

Yakalaatidde abattikiddwa bulijjo okukulembezanga empisa mu nkola y'emirimu gyabwe nti kino kijja kubawanguza era kibatuuze n'abalangira.

Akulira ettendekero lino Capt .Mike Mukula yategeezeza nti gano gabadde mattikira ga mulundi gwa 13 era  abayizi 130 bebattikidwa ' diguli ne dipuloma' nga bano bafunye obukuggu mu masomo g'eby'ennyonyi agenjawulo omuli okuvuga ennyonyi , okukola mu by'emiggugu ku nnyonyi nebirala bingi .

Yagasseko nti tebakoma ku kya kubatendeka kyokka wabula bafaayo nnyo okulaba nti babanoonyeza n'emirimu .

Captain Mike Mukula wakati ng'akwasa omu ku bayizi, Zahara Toto satifikeeti

Captain Mike Mukula wakati ng'akwasa omu ku bayizi, Zahara Toto satifikeeti

Bwatyo yasuubiza nti gyebugya bagya kuba batandika n'amasomo ag'okukanika ennyonyi eggwanga lyongere okufuna abakuggu abawera .

Munnabyabufuzi Esther Muthoni Passaris okuva muggwanga ly'e Kenya ye yabadde omugenyi omukulu ku mattikira gano yasabye abakulembeze mu mawanga ga 'Afrika 'bongere okugyawo emiziziko gyonna egikyalemesa enkola y'emirimu wakati wa mawanga gano nti kino kigya kuyambako nnyo okwanguyiza abayizi ababeera bakugguse mu masomo agenjawulo okufuna emirimu mu mawanga gano ewatali kyekubira yenna.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});