Poliisi eyodde 150 mu bikwekweto byayo e Kampala n'okwetooloola
Apr 14, 2025
Abantu abakunukkiriza mu 150 bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi n'amagye mu Kampala, Wakiso ne Mukono.

NewVision Reporter
@NewVision
Abantu abakunukkiriza mu 150 bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi n'amagye mu Kampala, Wakiso ne Mukono.
Ebikwekweto bino, bazuuliddemu enjaga, ebyuma ebyeyambisibwa okumenya amayumba wamu n'ebintu ebiteeberezebwa okuba ebibbe.
Ebiragalalagala bye baakutte n'abamu ku bazigu bano.
Mu Owino, Kisenyi, Musajjalumbwa ne Container Village mu Kampala, baayodde 62. Bonna bakuumirwa ku poliisi ya Old Kampala.
E Kakiri Magogo, Kyegobe, Zimudi ne Bukerere bakutte 28 ne babaggalira ku poliisi e Kakiri.
E Mukono, ekikwekweto byabadde Nakapyini, Mbalala,Nassuuti, mu ggombolola y'e Nama ng'eyo bakutteyo 14 era bakuumirwa ku poliisi y'e Mukono.
E Kawempe, Maganjo, Jajjawaza, Kawanda Kirinnyabigo, ne Ttula Mugalu zzooni eno baayoddeyo 26.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango agambye nti e Namaini, Kabubu, Nakwero ne Kijabijo bangi basangiddwa mu bifo eby’obulabe.
Agasseeko nti bakyagenda mu maaso n'ebikwekweto okulwanyisa obumenyi bw'amateeka obususse.
No Comment