Abasecuriko balumbye bbanka gye babadde bakuuma, okunyaga ssente poliisi n'ebasuuza ddiiru ; omu attiddwa!

Apr 27, 2025

POLIISI y’e Wakiso ezingizza abazigu b’emmundu ababadde balumbye bbanka okuginyaga okunyaga bbanka mu kiro n’ettako omu ate omulala n’asimattuka n’ebisago eby’amaanyi.

NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI y’e Wakiso ezingizza abazigu b’emmundu ababadde balumbye bbanka okuginyaga okunyaga bbanka mu kiro n’ettako omu ate omulala n’asimattuka n’ebisago eby’amaanyi.

Okello Omu Ku Bazigu Abaalumbye Bbanka E Wakiso.

Okello Omu Ku Bazigu Abaalumbye Bbanka E Wakiso.

Ab’emmundu okwabadde Emmanuel Okao ne Justine Okello be baalumbye bbanka ya Diamond Trust ettabi ly’e Wakiso n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente kyokka bano poliisi n’ebasuuza Ddiiru.

Abazigu bano baasoose kusala kkamera z’oku kizimbe ssaako okuggyako amasannyalaze era ekifo ne kikwata enzikiza. Ekyaddiridde bano kwe kuyingira mu bbanka munda nga bakozesa siiriingi ya Kaabuyonjo.

Baagudde butereevu mu kifo ewali sseefu ya ssente era mu kwagala okugisala, yakubye akade akaalabudde abeebyokwerinda.

Dpc Wa Wakiso, Esther Kizza Ng'alaga Ababbi Gye Baabadde Beekukumye.

Dpc Wa Wakiso, Esther Kizza Ng'alaga Ababbi Gye Baabadde Beekukumye.

Poliisi ya Wakiso eri kinnya na mpindi ne ofiisi za bbanka. Olwo zaabadde ssaawa 7:00 ez’ekiro mukiro ekyaakesezza ku Ssande.

Abazigu bano kyategeerekese nti baabadde bakuumi ba kkampuni ya GKO Security services era nga bano be bakuuma ofiisi za bbanka eno.

Kigambibwa nti baabadde bamanyi bulungi ewookuyita era nga n’omuwendo gwa ssente ogulimu bagumanyi.

Emmundu Abazigu Ze Baabadde Bakozesa.

Emmundu Abazigu Ze Baabadde Bakozesa.

Poliisi yawandagazza amasasi 100!

Poliisi n’amagye nga bakulembeddwa DPC wa Wakiso, Esther Kizza, yatuuse mu kifo kino era abazigu olwategedde nti babasazeeko, baalinnye waggulu mu siiringi gye baasinzidde okutandika okukuba amasasi.

Akulira ebikwekweto ku poliisi e Wakiso, Benard Ogang yagezezzaako okwogera n’abazigu bano basobole okukka wansi kyokka ne beerema era omu n’agamba munne nti we tugendera wansi bagenda kututta.

Ofiisi Za Bbanka Ya Diamond Trust Bank Ezaalumbiddwa Abazigu.12

Ofiisi Za Bbanka Ya Diamond Trust Bank Ezaalumbiddwa Abazigu.12

Amasasi gaatandise okwesooza nga gava waggulu mu bazigu ssaako ne poliisi era abazigu olwalemeddeko, poliisi yawaliririziddwa okukuba ttiyagaasi mu siringi nga bw’ewandagaza amasasi. Ensiitaano eno yatutte essaawa nnamba.

Mu kiseera kino, Okao eyattiddwa yabadde yeetala waggulu mu siringi kyokka olw’okuba ebipapula bya siringi ebisinga byabadde bikubiddwa amasasi, obwedda Okao ayitamu nga bw’agwa ebigwo.

Amasasi agasukka mu 100 agaakubiddwa, mwe muli agaakutte Okao ne gamuttirawo olwo munne Okello n’awanika emikono eri ab’ebyokwerinda era ono n’atwalibwa mu kaduukulu ku poliisi e Wakiso.

Okello Omu Ku Bazigu Abaalumbye Bbanka E Wakiso.

Okello Omu Ku Bazigu Abaalumbye Bbanka E Wakiso.

Rpc wa Kampala Metropolitan North, SSP Moses Nanoka yategeezezza nga bwe bali mukunonyereza okumanyira ddala olukwe kwe lwavudde era n’agamba nti Okello gwe baakyakutte agenda kubayambako mu kunoonyereza kwabwe.

Yagambye nti baasobodde okununula emmundu ezaakozeseddwa abazigu bano, kw’ossa engatto zaabwe ne yunifoomu ze baabadde bambala era nga bino byonna byatwaliddwa ku poliisi e Wakiso nga ebizibiti.

Omwogezi wa Diamond Trust Bank Samuel Matekha yagambye nti tewali ssente zaatwaliddwa era mu kiseera kino bali ku kyakulowooza kuteekawo bakuumi balala na kulaba butya bwe baddamu okukola.

“Ofiisi zaffe ziri kukizimbe kyekimu okuli ofiisi z’ebyettaka, naye twebaza nti tewali kintu kyonna kyabuza oba okutwalibwa olw’ensonga nti poliisi yatuuse mubudde. Tukyakwataganye n’abebyokwerinda okulaba kyetugenda okuzaako.” Matekha bweyayongeddeko.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});