Yiino mmotoka Paapa mwe yatambulira lwe yakyala mu Uganda
Apr 23, 2025
MMOTOKA ya buyonjo ey’ekika kya Kia Sou , Paapa Francis mwe yatambulira mu 2015 okuva ku kisaawe e Ntebe okugenda mu maka g’Obwapulezidenti gye yava okugenda e Namugongo wuuyo Kololo, ezuuse!

NewVision Reporter
@NewVision
MMOTOKA ya buyonjo ey’ekika kya Kia Sou , Paapa Francis mwe yatambulira mu 2015 okuva ku kisaawe e Ntebe okugenda mu maka g’Obwapulezidenti gye yava okugenda e Namugongo wuuyo Kololo, ezuuse!
Mu kiseera kino, mmotoka eno eriko nnamba za UC 2519 C eza ofiisi ya Pulezidenti wabula ku lwa November 27 ne 28 2015 Paapa lwe yali mu Uganda mmotoka eno yaliko nnamba SCV 1 ng’eno ye nnamba entongole eya mmotoka ya Paapa
SCV 1 mu bujjuvu kiggwaayo “Status Civitatis Vaticanae”, mu Lulatini ate mu Luyitale kiggwaayo “Stato della Città del Vaticano” nga mu Lungereza kivuunulwa Vatican City.
Omuwandiisi ow’enkalakkalira owa ofiisi ya Pulezidenti, Hajji Yunus Kakande yalaze bannamawulire mmotoka eno n’agamba nti etwalibwa nga kyabulambuzi era bagikuuma bulungi.
Hajji Kakande yasaasidde Bannayuganda naddala Abakatoliki olw’okufiirwa omukulembeze ow’ekisa era omulwanirizi w’emirembe n’eddembe mu nsi yonna.
Yagambye nti Paapa Francis anajjukirwa olw’okulafuubanira emirembe wakati wa Yisirayini ne Palesitayini n’okuvaayo okusaba Russia n’erya Ukraine okukomya olutalo wabula babeeko enzikiriziganya ze batuukako wadde nga w’afiiridde ebiruubirirwa bye bino bibadde tebinnateekebwa mu nkola .
Wano we yasinzide n’asaba bannabyabufuzi ba kuno okubaako kye bayigira ku Paapa
No Comment