Kakyebezi bamutwalaganya ku bwameeya bwa Mbarara

Apr 16, 2025

OMULIRO gutandise mu kibuga Mbarara ku kifo ky’obwameeya, abantu 8 bwe bavuddeyo okuvuganya meeya aliko, Robert Kakyebezi, nga mwe muli n’omubakaMbwatekamwa Gafa.

NewVision Reporter
@NewVision

OMULIRO gutandise mu kibuga Mbarara ku kifo ky’obwameeya, abantu 8 bwe bavuddeyo okuvuganya meeya aliko, Robert Kakyebezi, nga mwe muli n’omubaka
Mbwatekamwa Gafa.
Mbwatekamwa aleese puleesa mu kalulu kano, olw’obumanyirivu bw’alina mu kuwangula nga buli kisanja akiikirira kitundu kipya, kw’ossa enneeyisa ye ekwatagana
amangu n’omuntu wa bulijjo, ate nga musajja mwogezi kayingo. Yasooka kukiikirira kitundu ky’e Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende, wakati wa 2016
-2021. Bwe yamalako ekisanja ekyo, yadda mu disitulikiti y’e Bushenyi mu Igara West eyalimu Raphael Magyezi era n’awangula mu 2021, nga kati nayo avuddeyo
n’adda ku bwammeeya bw’e Mbarara.
Kakyebezi yali mukozi wa Vision Group ng’akola ku Radio West, eyamutunda ennyo
ng’akolako pulogulaamu Akaggwe ne Nyamunyonyi eyakeerangako ku makya
ng’ekubiriza abantu okuzuukuka bagende bakole. Kino ekisanja amalako kyakubiri okuva lwe yasiguukulula omusuubuzi ow’amaanyi mu Mbarara, Wilson Tumwine.
Abantu abalala abeesowoddeyo kuliko eyaliko omukozi w’akakiiko k’ebyokulonda, Dan
Ruhemba, eyaliko ssentebe wa Divizoni y’e Kakoba, Hajji Rashid Mukasa ng  kati ye ssentebe w’Abasiraamu mu Mbarara City.
Ne ssentebe wa NRM e Mbarara, Herbert Kamugisha. Kamugisha y’akulira Abakrisitaayo mu Bulabirizi bwa Ankole ng’alina bizinensi ya wooteeri.
Kuliko n’omukozi w’oku leediyo mu Mbarara, Jonathan Aijuka. Okumu ku kusoomoozebwa Kakyebezi kw’ayiseemu, mwemuli okusika omuguwa ku ssente ezaagula ekifo we basuubira okussa akatale k’amatooke, abamu ku batuuze mu Mbarara
kye bagamba nti kiri mu lutobazzi era ezaakiggulawo zaafa busa. Mbwatekamwa bwe twayogeddeko naye yagambye nti ekimuleeta, kwe kutaasa ekibuga Mbarara kye yayise omutima gwa Ankole, ekikoseddwa obukulembeze obunafu, ng’abantu abamu
 bamala gazimba, ebitundu ebimu temuli nguudo, amataala ku makubo tegayaka, nga ne ssente eziva mu misolo ziggweera mu nsawo za bakulembeze.
Kakyebezi agamba nti by’akoze abantu b’e Mbarara babimanyi, uba azimbye amakubo, amalwaliro gakuze nga ge yasanga ku mutendera gwa Health Centre II kati ga Health  Center III. Enguudo ezimu ziri mu mbeera embi, yakitadde ku Gavumenti okubawa ssente entono okuddukanya emirimu gy’ekibuga.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});