Enkumi n’enkumi z’abakkiriza bajjumbidde okutambuza ekkubo ly’omusaalaba

Apr 19, 2025

Abakkiriza mu kibuga ky’e Mukono okuva mu nzikiriza okuli ey’Abakatoliki n’Abakulisitaayo bajjumbidde okutambuza ekkubo ly’omusaalaba. Fr. Benedict Mugerwa, omuyima (chaplain) w’abavubuka Abakatoliki mu Uganda y’akulembeddemu Abakatoliki sso ng’Abakulisitaayo bbo bakulembeddwamu Rev. Canon Geoffrey Kagoye omusumba w’obusumbwa bwa St. Dunstan mu busaabadinkoni bw’e Nassuuti mu bulabirizi bw’e Mukono.

NewVision Reporter
@NewVision

Okutambuza omusaalaba

Okutambuza omusaalaba

Bano batambudde okuva e Wantoni ne bagenda ku St. Dunstan ne batooloola, ne bayita mu katale ka Kame Valley, ku ppaaka ya ttakisi e Mukono ne bayolekera okutuuka ate ku Klezia ya St. Paul gye balifundikiridde.

Ng’ayogera eri abakkiriza, Canon Kagoye abategeezezza nti okutambuza ekkubo ly’omusaalaba tebasaanidde kukikola nga kinyumo naye balikozese okukyuka bave mu bikolwa eby’obubbi, obulyake n’agamba nti eky’ennaku kwe kuba nti abamu beejajaamya ne batunka n’okwetunda nga tebabaliridde mibiri gyabwe.

Ate Fr. Mugerwa bano abasabidde basobole okufuna mu kkubo ly’omusaalaba lino baleme kuliviiramu awo.

Ate omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke naye aliko obubaka bw’ayisizzaawo n’asaba abakulembeze b’enzikiriza okusabira eggwanga mu kikemo kye lyolekedde mu nteekateeka gavumenti gy’eyagala okukyusa etteeka ly’amagye ekigenda okukontana ne ssemateeka w’eggwanga.

Okutambuza omusaalaba

Okutambuza omusaalaba

Nambooze era yeesammudde ne yeegaana nti ye si y’omu ku babaka abaatutte ensimbi obukadde 100 n’asaba gavumenti okulowooza ennyo ku kusasula abakozi omuli abasirikale, abasomesa n’abalala mu kifo ky’okufa ennyo ku bababaka ba palamenti ate abasasulwa obulungi ennyo.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});