Bannaluweero nabo batambuzza ekkubo ly'omusaalaba

Apr 19, 2025

ABAGOBEREZI ba Kristu e Luweero bagumidde enkuba ne batambuza omusaalaba nga bajjukira okubonaabona kwa Ywsu Kristu ng'afiiririra aboonoonyi ne basaba abantu okugoberera Katonda byayagala.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAGOBEREZI ba Kristu e Luweero bagumidde enkuba ne batambuza omusaalaba nga bajjukira okubonaabona kwa Ywsu Kristu ng'afiiririra aboonoonyi ne basaba abantu okugoberera Katonda byayagala.
Okutambyza ekkubo ly'omusaalab

Okutambyza ekkubo ly'omusaalab

 
Baakulembeddwa omusumba w'essaza lya Kasana Luweero Lawrence Mukasa,omulabirizi wa Luweero Wilson Kisekka ne bannaddiini abalala nga baasimbuse ku keleziya e Kasana ne betoloola enguudo mu kibuga Luweero wakati mu kukoloobya ennyimba ezitendereza katonda ne basibira ku kkanisa y'omutukuvu Makko e Luweero.
 
Bannabyabufuzi omuli omubaka wa Katikamu North Denis Sekabira , ssentebe wa disitulikiti ya Luweero Erasto Kibirango, Meeya wa Luweero John Buwembo ne ba kansala ne batambuza omusaalaba.
 
Omusumba Mukasa yasabye abantu obutatwala kintu kino nga kinyumu wabula beefumitirize ebyaleeta Kristu okutubonaabonera baleke ebibi era bakole ebikolwa eby'ekisa eri bannabwe.
 
Omulabirizi Kisekka  yasiimye obumu obwayoleseddwa mu b'enzikiriza nga batambuza omusaalaba n'asaba bugende mu maaso mu kukola ebitwala ekkanisa n'eggwanga mu maaso
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});