Pulezidenti akunyizza ba yinginiya ku nguudo embi

Apr 19, 2025

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okwongeza emisaala gy’abakulembeze kumitendera egya gavumenti ez’ebitundu basobole okutuusa obuweereza ku bantu ng’emitima gibali mu nteeko.

NewVision Reporter
@NewVision

PULEZIDENTI Museveni asuubizza okwongeza emisaala gy’abakulembeze ku
mitendera egya gavumenti ez’ebitundu basobole okutuusa obuweereza ku bantu ng’emitima gibali mu nteeko.
“Wadde tulina abakozi ba gavumenti, twasalawo tubeere n’abakulembeze abavudde mu
mmwe, era bano ekimu ku bye balina okukola kwe kulondoola bali abakozi ba gavumenti, naye wabaddewo okwemulugunya ku
misaala,” bwatyo Museveni bwe yagambye.
Yabadde mu lukung’aana lwa Bannamawulire mu maka ’Obwapulezidenti e Mubende
bwe yabadde afundikira okulambula kwe mu disitulukiti 5 okuli;
Mityana, Mubende, Kiboga, Kyankwanzi ne Kassanda.
Museveni yagambye nti, oluusi obuweereza bulema okutuuka mu bantu kubanga bannabyabufuzi balemwa okulondoola abakozi ba gavumenti mu nkola zaabwe.
Yasuubizza nti, okutandikira ku Ssentebe w’ekyalo, bagenda kwongezebwa emisaala kibasobozese okukola obulungi emirimu gyabwe.
Pulezidenti era yalabudde abasomesa abasolooza ensimbi ku bayizi mu masomero ga Bonna Basome n’agamba nti, agenda kubalondoola bavunaanibwe. Yayogedde ku nguzi n’obubbi mu bakozi ba gavumenti n’agamba nti, agenda kukirwanyisa, kyokka n’asaba abatuuze n’abakulembeze bayambeko mu kulondoola ensonga eno.
Yalabudde Bannayuganda ku butonde bw’ensi n’agamba nti, waliwo abagufudde omuze
okusenga mu ntobazzi ate nga kimenya mateeka.
Ku by’ettaka, Pulezidenti yagambye nti, yeewuuny lwaki wakyaliwo ekisengulabantu, kubanga etteeka lirambika bulungi nti, tewali wa kibanja alina kugobebwa ku ttaka.
Yagambye nti, agenda kukung’aanya ababaka be mu disitulikiti (ba RDC) abatwale e
Kyankwanzi, ayongere okubasomesa ku nsonga zino naddala ez’ettaka okulaba nga bayamba abantu baabwe.
Ku by’obufuzi, yalabudde abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okwewala okusosola mu mbeera zonna, baleke abantu balonde abakulembeze baabwe be
balaba abasaana.
ENGUUDO EMBI ZIMUTABUDDE
Emu ku nsonga eyasinze okunokolwayo buli wamu ye y’amakubo amabi, abatuuze nga basaba nti, gakolebwe, kyongere okubayamba  okutambuza ebyamaguzi byabwe.
Mu kiseera kino, ekkubo eriva e Mityana okudda e Mubende likolebwa wadde ng’omulimu gugenda kasoobo.
Pulezidenti yakunyizza abakola ku by’enguudo n’ababuuza lwaki balinda amakubo okwonoonekera ddala olwo ne balyoka bagakola, n’agamba nti, bateekwa okugatandikako nga tegannayonooneka. “Nnayise mu luguudo oluva e Ssekanyonyi okudda e Mityana nga lubi nnyo, ate n’olukolebwa olwa Mubende nalwo nga lubi
 ne nneewuunya lwaki lwatuuka mu mbeera eno,” bwatyo bwe yagambye.
Yagambye nti, mu kitundu kya Buganda, amakubo we gasinga okubeera amabi kyokka mu bitundu ebirala gali bulungiko, ne yeebuuza lwaki kiri bwe kiti.
Wano yayise abakungu okuva mu minisitule y’ebyenguudo okunnyonnyola era ne bamukakasa nti, bali mu ntegeka   ez’okukola enguudo nga olw’e Mityana - Ssekanyonyi, olw’e Mubende - Lusalira n’amalala, ne bamwetondera

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});