Musumba Kayanja akubirizza abantu okkulembeza embala z'obwa Katonda
Apr 20, 2025
OMUSUMBA w'ekkanisa ya Miracle Center Cathedral Lubaga, Robert Kayanja asabye abakkiriza okwewa obuvunaanyizibwa singa baakufuna empeera eri Katonda.

NewVision Reporter
@NewVision
OMUSUMBA w'ekkanisa ya Miracle Center Cathedral Lubaga, Robert Kayanja asabye abakkiriza okwewa obuvunaanyizibwa singa baakufuna empeera eri Katonda.
Yasinzidde mu kusaba kw'amazaalibwa ga Yesu Kristu e Lubaga ng'agamba nti ne Yezu kwali kutwala buvunaanyizibwa bwe okubafiiririra ku musaalaba.
Wano we yasinzidde era n'ategeeza nti ng'e Kkanisa ya Miracle Center, beewadde obuvunaanyizibwa okuddaabiriza ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba ebadde kumpi ezibikidde n'okusaanawo.

Musumba Kayanja ng'asabira abantu
Yategeezezza nti baatudde n'Obwakabaka ne bazuula nti ennyanja eno ey'ebyafaayo bannakigwanyizi beefubiridde okugisanyaawo kye bava batwala obuvunaanyizibwa okugizza obuggya.
Kayanja agamba nti mu kaweefube ono, batandise n'okusimba ebitoogo by'okusengejja amazzi gaayo, okugoogola emyala egibadde giyiwamu mukoka, ng'obudde bwonna baakutandika okugisima nga bagigoogola.
Yennyamidde ku bantu abasanyaawo obutondebwensi ng'agamba nti baakusengula n'abo bonna abeesenza ku nnyanja eno mu ngeri emenya amateeka.
Enjiri ye, yagyesigamizza ku kwewa obuvunaanyizibwa ssaako n'okwejja mu bwavu n'asaba abantu bulijjo okuyiga okutereka ssente n'okuzisiga singa baakugaggawa n'akubiriza abantu obuteejalabya
Related Articles
No Comment