Eyaliko DPC wa poliisi y'oku Jinja Road bamusanze mu kinnya kya kazambi ewuwe nga mufu!!

Apr 21, 2025

ABAKUGU bakyagenda mu maaso n'okwekebejja omulambo gw'omuserikale wa poliisi agambibwa okuba nti yesse.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKUGU bakyagenda mu maaso n'okwekebejja omulambo gw'omuserikale wa poliisi agambibwa okuba nti yesse.

Julius Ahimbisibwe, abadde ku ddaala lya Senior Superintendent of police era nga yaliko DPC ku poliisi ya Jinja Road mu Kampala, y'asangiddwa mu maka ge e Kyengera ng'afudde.

 

Kigambibwa nti yandiba nga yeeyimbyemu ogwa kabugu ne yeggya mu bulamu bw'ensi kyokka ng'abalala bagamba nti kyandiba nga waliwo abaamusse.

Kinajjukirwa nti omugenzi , yafunamu obutakkaanya ne mukyala we, gye buvuddeko, nga kyaviraako n'okumukuba essasi n'atwalibwa mu ddwaaliro era Julius n'akwatibwa,n’asooka n’awummuzibwamu ku mulimu gwe ng’okunoonyereza bwe kukolebwa.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti omulambo gukyali mu kwekebejjebwa mu ddwaaliro e Mulago okuzuula ekituufu era nga waliwo ne sitatimenti, ezigiddwa ku b'awaka, okwongera okunoonyereza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});