Ebintu bye bagenda okuziika ne Paapa
Apr 25, 2025
Paapa Francis akyusizza ebintu bingi mu ngeri gy’agenda okuziikibwamu, kyokka waliwo obulomlombo obutakyusiddwa, mu bintu by’alina okuziikibwa nabyo.

NewVision Reporter
@NewVision
Paapa Francis akyusizza ebintu bingi mu ngeri gy’agenda okuziikibwamu, kyokka waliwo obulomlombo obutakyusiddwa, mu bintu by’alina okuziikibwa nabyo.
Omuluhhamya w’emikolo gy’Obwappaapa, Ssaabasumba Diego Ravelli, yagambye nti Paapa Francis okusalawo obutamuziika mu ngeri ey’amasappe, yali ayagala okuziika kwe kubeere okw’omusumba owa bulijjo, era omugoberezi wa Yezu Kristu, so si ng’omuntu ow’amaanyi oba ow’ekitalo ennyo ku nsi.
Ebimu ku bintu ebigenda okuziikibwa ne Paapa Francis kuliko:
l Enkofiira ye ey’Obwapaapa. Enkofiira eno enjeru eraga obutukuvu, ekitiibwa, n’obuyinza bwa Paapa.
l Era bagenda kumuziika ne ssappule eteereddwa mu mikono gye, okulaga engeri Paapa Francis gy’abadde ayagalamu Bikira Maria, era nga yasazeewo aziikibwe mu Klezia ya Bikira Maria eya Santa Maria Maggiore, so si mu Klezia y’omutuukirivu Petero e Vatican ba Paapa abasinga obungi gye baziikiddwa.
l Bagenda kumuziika n’ensawo omuli ebinusu 12, nga buli kinusu kitegeeza omwaka gw’amaze nga Paapa. Yafuna Obwapaapa mu 2013, ekitegeeza nti amazeeko emyaka 12, by’ebinusu 12 bye bagenda okumuziika nabyo.
l Kuno kwe bagenda okugatta ekitabo ekyogera ku bulamu bwa Paapa Francis nga bwe bubadde, naddala ebikulu by’akoze. Ekitabo kino kiyitibwa ‘rogito’ mu lulimi Oluyitale. Kkopi y’ekitabo kino egenda kuterekebwa mu tterekero ly’ebiwandiiko ebyebyafaayo e Vatican, okusobozesa abalijja mu biseera eby’omu maaso eyo okumanya ebyafaayo by’aba Paapa abaakolerera okunyweza Ekleziya.
l Empeta Francis gy’abadde ayambala ku ngalo, eyakubiddwa Kalidinaali Kevin Farrell akola nga Camerlengo, n’eyatikayatika, nayo bagenda kugiziika ne Paapa Francis, ng’akabonero akalaga nti ekiseera kye nga Paapa kikomekkerezeddwa. Empeta eno emanyiddwa nga ‘The Fisherman’s Ring’ ekitegeeza empeta y’omuvubi. Kino kiva ku kuba nti Petero, Katonda kwe yazimba Ekleziya ye era Paapa eyasooka yali muvubi nga Bapaapa e 266 nga ne Francis eyafudde kw’ali bonna basika be.
PAAPA BYE YAGAANYE OKUMUZIIKAMU
Paapa Francis yakyusizza akalombolombo k’okuziika Bapaapa mu kkeesi essatu akabaddewo. Ye yasazeewo bamuziike mu kkeesi emu ng’omuntu wa bulijjo.
Bulijjo Bapaapa babaziika mu kkeesi ssatu, okuli esooka eraga obwetoowaze n’obulamu obutaggwaawo, endala ekuuma omubiri gwa Paapa guleme kutaataaganyizibwa kintu kyonna n’eyookusatu era esemba ku ngulu eraga ekitiibwa n’amaanyi ga Paapa. Bino byonna Paaapa Francis yabigaanye, ng’agamba nti ng’abantu abalala, naye muntu wabulijjo era alina kuziikibwa ng’owaabulijjo
No Comment