Be balumiriza okuba ab'ebijambiya bakwatiddwa poliisi ; omu attiddwa!
Apr 21, 2025
Omuntu omu attiddwa n'abalala babiri ne bakwatibwa nga babalumiriza okubeera ababbi abeebijambiya, abaludde nga batigomya Bannakampala.

NewVision Reporter
@NewVision
Omuntu omu attiddwa n'abalala babiri ne bakwatibwa nga babalumiriza okubeera ababbi abeebijambiya, abaludde nga batigomya Bannakampala.
Abaakwatiddwa Bwe Bafaanana.
Bino bibadde mu zzooni ya Kikoni A mu muluka gwa Makerere I e Kawempe mu Kampala, Muran Lumala bw’attiddwa ate abalala okuli Sharon Ssemwanga 18, agambibwa okuba omuyizi wa YMCA ng'asula Salaama n'akwatibwa ne munne Richard Nyenya ow'e Bbiina Mutungo.
Kigambibwa nti bino okubaawo, ababbi ab’amajambiya babadde bagezaako kunyaga ab'amabaala, aba bbooda n'abantu ssekinnoomu mu Kikoni, kwe kutemya ku poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti bazudde pikipiki nnamba UMA 513 A L n'ekiso era nga mu kiseera kino , banoonya abalala babiri abadduse nti kuba babadde bataano.
No Comment