America yaakwongera okulwanyisa obulwadde bwa Ebola mu Uganda
Apr 21, 2025
EKITEBE kya America mu Uganda kyakwongera okuwaayo obuyambi okulwanyisa ekirwadde kya Ebola okusaasaana n’okutaasa obulamu bw’abantu.

NewVision Reporter
@NewVision
EKITEBE kya America mu Uganda kyakwongera okuwaayo obuyambi okulwanyisa ekirwadde kya Ebola okusaasaana n’okutaasa obulamu bw’abantu.
Okuva Ebola lwe yabalukawo mu Uganda ku ntandikwa y’omwaka guno, ekitebe kya America mu Uganda kizze kiwaayo obuyambi obw’enjawulo okujjanjaba ababufunye ssaako okukomya ensaasaana y’ekirwadde ekyo mu ggwanga.
Pop Ng'akwasa Minisita Kawooya Eddagala N'ebikozesebwa
Omubaka wa America mu Uganda, William W. Pop yawaddeyo ebikozesebwa mu bujjanjabi eri minisita omubeezi ow’ebyobulamu, Amiga Kawooya Bangirana n’agamba nti ebintu ebiweereddwayo bikulu nnyo mu kutaasa obulamu n’okulwanyisa obulwadde buno okufuula Uganda ne America ensi ennungi ku bulamu bw’abantu.
Yayongeddeko nti America yeewaayo ku kuvumbula, okugabana n’okulaba ng’ebyobulamu by’abantu birungi mu nsi yonna ngera okujjanjaba Ebola babeera banyweza enkolagana ey’awamu.
Pop yagambye nti baakugenda mu maaso okuyambako okunoonya abalwadde ba Ebola, okujjanjaba, okutuusa obubaka mu bantu ssaako okutuukirira abantu mu bitundu byabwe okubamanyisa obulwadde buno basobole okubuziyiza okusaasaana n’abantu okumanya enzijanjaba yaabwo.
No Comment