Okunaaba ne munno n’okunaaba wekka kiriwa ekisinga obulungi mu baagalana?
Apr 22, 2025
ABAMANYI eby’omukwano bakukubiriza okunaaza ku munno. Waliwoabatakikola kyokka bwe baba banaaba, abaagalwa baabwe babaawo era ne babalaba.Eriyo n’abeggalira mu kinaabiro obutalabwako!

NewVision Reporter
@NewVision
ABAMANYI eby’omukwano bakukubiriza okunaaza ku munno. Waliwo
abatakikola kyokka bwe baba banaaba, abaagalwa baabwe babaawo era ne babalaba.
Eriyo n’abeggalira mu kinaabiro obutalabwako!
Okunoonyereza kwe twakoze, waliwo omuntu anyumirwa okunaaba nga munne amulaba kyokka era ate waliwo be kitakolera. Abatakiwagira boogera ku nsonyi
nti era si kirungi kwetegereza munno kumutuuka wala gye weetaaga okulaba nga muli mu kazannyo kali. Ebyo birowoozo by’abaagalana ababeera bonna Mmande ku Mmande.
Kyokka bano abeesisinkana ak’olumu, haa…! Bangi baba baagala kunaaba bonna nga bwe beekuuta mu mugongo. Wano we wava endowooza nti oba abanaaba bokka bandiba nga beebo abaludde mu mukwano, buli omu n’atandika okulaba munne g’owa bulijjo?.
NAYE EKITUUFU KYANDIBADDE KI?
Okunaaba ne munno oba onaabe wekka? Ssenga Hamidah
a tovu, omukugu mu kubuulirira abaagalana agamba nti buli kintu kibeera n’ensonga
era abaagalana, basobola okunaaba bonna ne basobola okwekuutako mu mugongo.
Naye ate oluusi olw’okuba obutonde bw’omukyala tebwetaaga kukozesebwa nga mugenzeemu amazzi, kirungi omukyala n’asooka anaaba ne yeekazaolwo n’alyoka akola emikolo gy’okwegatta nga talina mazzi mu bukyala gatali ga butonde. Wadde abafumbo babeera n’ebbeetu okunyumiza akaboozi mu buli kifo we baagalidde naye
ekituufu bwe babeera bakanyumirizza mu kinaabiro kirungi bwe bamaliriza okukanyumya omu n’aleka munne n’anaaba yekka n’omulala n’amala n’ayingira n’anaaba ebibyeSsenga Hamidah agamba nti omukyala yandinaabye yekka, era
kirungi nti wadde anaabye yekka, n’abeerako akagoye ke yeesibako akaweweera nga ne bw’abeera afunye obuzibu, amudduukirira amusanga alinako akagoye.
Bw’amaliriza okunaaba n’alyoka yeesiba ttawulo, akagoye kali k’abadde yeesibyeko nga kaweweera n’akaleka ng’akaanise.
Olw’okuba abaami baffe abamu obusimu bwabwe tebusituka bulungi, kirungi bw’amala okunaaba, omukyala n’omukuuta ebigere kuba obusimu bwabwe buli mu ntobo ya bigere byabwe.
Edda, abawala mu bye babasibiriranga mwalingamu n’ejjinja erikuuta ebigere by’omwami we era we waava olugero olugamba nti;Amuguddeko kiyiifuyifu, omugole
ky’agwa ku ncaaca za bba.
Ebirungi ebiri mu mukyala okunaaba yekka nga bba tamulaba; l Omukyala buli lw’anaaba yekka ng’omusajja tamulaba, abeera n’amaddu agalaba ku bitundu
bye by’amukweka ng’anaaba.
Ate buli lw’onaaba ng’akulaba ebitundu by’omubiri gwo byonna abiriisa amaaso n’akutta. Omuntu omusajja gw’alengera akabina mu lugoye, kaba ka njawulo kw’ono
akamulaze ng’anaaba n’akalaba nga bwe kaakula.
l Omukazi ayinza okulowooza bw’anaaba nga bba amulaba bimusanyusa
kumbe bimunyiiza era mu mbeera eno, anaabye yekka asinga. l Bw’onaaba nga tebakulaba, buli kitundu okiwa obudde n’otukulira ddala bulungi.
Mu mukwano twekisize akira tunamma.
Edda abawala baababuliriranga okubeera ab’ensonyi era nga bakuutirwa okunaaba nga bba tannakomawo kuva mulimu ate nga tolina kwambala ng’akulaba.
Baabayigirizanga nti omukyala bw’aba anaaba obukyala abukuba
jjambo n’onaaba n’ebbali n’olema kuyingiza lugalo munda. l Omukyala ateekeddwa okunaaba naddala ng’ali waka buli luvannyuma lw’akola omulimu ogumuddugaza
n’atuuyana, ne bw’aba amaze kufumba era omukyala omuyonjo tasaanye kujjulira
mwami we mmere nga tasoose kunaaba kuba ye mwennyini sobola okumumalako obwagazi bw’okugirya naddala bw’aba awunya omukka n’akawoowo k’ebyo by’aba yafumbye.
Abakyala basaanye bakiyige nti bwe babeera awaka, tebasaanye kwambala kawale ka munda, kuba kalungi ng’alina gy’alaga enfuufu n’erema kumuyingira naye awaka asaanye n’ayingiza ku mpewo ey’obulamu.
Ssenga Hamidah akomekkereza agamba nti mu buntu, omukyala tewali
kikunaabisa nga bakulaba bw’oba oyagala omusajja wo asigale ng’akwegomba
n’omusajja naye bw’atyo. Ate abasajja bo balabika ngeri nga bali bukunya.
ANAABA NGA BAMULABA AKOLE ATYA?
l Omuntu bw’anaaba nga bamulaba bw’aba yeekuta mu bitundu
bye ebyensonyi alina kukozesa mukono gwe gwa kkono, munno aleme kumwenyinyala
kuba bw’omala okunaaba oluusi oba olina okumuwa ekyokulya.
OBWEREERE BW’OMUKAZI BUCAMULA OMUSAJJA
Kojja Bryan Ssemanda, abuulirira abafumbo okuva e Komamboga agamba nti ebimu
ku bintu ebicamula omusajja kwe kulaba ku bwereere bw’omwagalwa we. Annyonnyola nt ; Era abaagalana abamu, banyumirwa nnyo akaboozi k’omu kinaabiro
kuba babeera bagenze kunaaba ne bamaliriza nga banyumirizzaayo
kaboozi. Kino kiva ku buli omu kulaba ku bwereere bwa munne obusimu ne busituka. Tewali musajja asobola kulaba mwagalwa we ng’anaaba ali bwereere n’asigala kye kimu
era omukyala waasalirawo okunaaba nga bamulaba abeera ayagala bba afune obwagazi
ng’amutunuddeko.
Wabula tekiteekeddwa kubeerakya buli lunaku kuba omwagalwa wo bw’akwetegereza, akakwagala Ssenga Lwakubiri April 22, 2025 Bukedde 15 Akakola k’olunaku
kayinza okukendeera. Ekituufu kyandibadde nti singa musobola, mu mwezi mwandinaabyeko mwembi emirundi ng’ebiri buli omu n’akuutako munne mu mugongo. Alina omuntu gw’olwawo okulaba, tolina nsonga lwaki onaaba weekwese kuba amaddu mubeera mwerinako mangi nga mwetaaga okukwetegereza obwagazi bweyongere
No Comment